Akakiiko k’ebyokulonda aka Uganda electoral Commission kalangiridde Emmanuel Omoding atalina kibiina kwajidde okujjuza ekifo ky’omubaka we Serere.
Omoding azze mu bigere bya kitaawe eyafiira mu kabenje Patrick Okabe.
Emmanuel Omoding afunye obululu 15,638.Munna NRM Phillip Oucor akutte kyakubiri n’obululu 13,206.
Alice Alaso owa ANT akutte kyakusatu n’obululu 3,335.
Onguruco Martin talina kibiina akutte kyakuna n’obululu 2,523.
Ate owa FDC Eratu Emmanuel afunye 1,252.
Akulira eby’okulonda e Serere Cheptegei Nangendo Sylivia y’alangiridde ebivudde mu kulonda.#