Conrad Ssaabwe yaasikidde Kato Lubwama.
Olumbe lwa Kato Lubwama lwabiziddwa mu maka ge e Mutundwe mu gombolola ye Lubaga mu Kampala.
Obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa minister w’eby’amawulire n’okukuunga abantu Owek.Israel Kitooke.
Minister Kitooke atenderezza Kato Lubwama ng’eyali omuntu ewanjawulo eyakozesa obulungi ekitone kye n’asaba omusika okutambulira mu buwuufu obwo.
Bannabyabufuzi ne bannakatemba bangi betabye mu kwabya olumbe.
Kato Lubwama yaliko omubaka wa parliament owa Lubaga South, yaliko omukozi ku CBS radio okumala emyaka egiwera, yali muyimbi era munnakatemba.
Abayimbi bangi abaayita mu mikono gye bamwogeddeko ng’omuntu eyali ow’enjawulo, yasitula ebitone, yakyusa obulamu bwabwe n’ebirala bingi.#