Police mu district ye Luweero eri ku muyiggo gw’abazigu 7 abatanategerekeka abagambibwa okuyingirira essundiro ly’amafuta erya Mack Petrol Station erisangibwa mu kabuga ke Kasana mu district ye Luweero nebakuuliita n’ensimbi.
Kigambibwa nti abasajja bàno 7 abaabadde batambulira mu mmotoka y’abuyonjo ey’ekika kya Toyota Wish enjeru etaategerekese namba, befudde abaagala okunywa mafuta agemitwalo 50,000, wabula omukozi yabadde annyiga ensimbi mu kyumu, omusajja omu eyabadde ayambadde akakofiira kwekumukwata n’amunyweza ekiwato, nga bwamulagira okubawa sente zonna zeyabadde atunze.
Ayogerera omwogezi wa Police mu Luweero Sam Twineamazima agambye nti okunoonyereza kwebaakakolawo kulaga nti omukuumi eyabadde akuuma essundiro lino Otim Benard, yegasse ku banyazi natuzuza emmundu mu mukozi nga bwebamukanda ensimbi.
Kiteberezebwa nti ensimbi obukadde 24,846,000 , computer 6 ne layini y’essimu okuli mobile money byebyanyagiddwa.
Bisakiddwa: Taaka Conslata