Emirimu gyesibye okumala ekiseera ku ttabi lya Equity bank erisangibwa mu mu kibuga Soroti,ab’ebyokwerinda okuva mu Police n’amaggye abayiiriddwa ku bank okwanganga ababbi abakedde okuziingako bank nekigendererwa ekyonyagulula ensimbi.
Kigambibwa nti ababbi basoose kuwamba abakuumi ba bank eno, olwo nebayingira munda mu bank.
Emirimu ku bank eno, nebitundu ebiriraanye bank gyesibidde ddala olw’abebyokwerinda okuzingako ekifo kyonna nga bateebereza nti ababbi babadde balina emmundu era nti babadde besibidde munda mu bank.
Enguudo eziwerako ezituuka ku bank eno mu kibuga Soroti nezigglwa.
Wabula tewali mubbi noomu akwatiddwa, abakuumi ba bank 2 okuva mu kampuni ya SGA bebakwatiddwa bongere okuyambako police mu kubuuliriza.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa abakulira kampuni, tewali mukozi noomu alumiziddwa, wadde okutwala ensimbi, era emirimu gizeemu okutambula obukwakku.#