Olukungaana lw’ensi yonna (ICASA 2023) olwokutema empenda mu kulwanyisa Mukenenya olutudde mu kibuga Halare ekya Zimbabwe lugguddwawo, n’omulanga eri abakulembeze mu Africa okukozesa obulungi ensimbi ezissibwawo okulwanyisa siriimu, n’okulaba ng’abetaaga obujjanjabi babufuna mu budde.
Olukungaana luno olutegekeddwa ekitongole ky’amawanga amagatte ki UNAIDS, luguddwawo President wa Zimbabwe Emmerson Mnangagwa, ng’ali bumu ne president wa Mozambique Jacinto Nyusi, akulira UNAIDS munsi yonna Winnie Byanyima n’abalala.
President Mnangagwa agambye nti Africa erina obusobozi okulwanyisa Mukenenya, kyokka omulimu guno gwetaaga abakulembeze abeerufu ate abateekesa mu nkola amateeka.
President Mnangagwa agambye nti amateeka agassibwawo mu mawanga ga Africa okulwanyisa mukenenya galina obusobozi obumalawo siriimu singa abakulembeze n’abantu bonna babeera bewaddeyo okutuukiriza ekiruubirirwa ekyo.
Omubala gw’olukungaana luno olqq 2023 gugamba nti; ‘Siriimu Akyaliyo’.
Essira lyesigamye ku kwekuume; abalwadde bamire eddagala; okukomya okusonga ennwe; n’okutaasa abavubuka naddala abawala.
Mozambique, Jacinto Nyusi; akulira UNAIDS, Winnie Byanyima; n’abakungu n’abantu bangi
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nga yeyakiikiridde Obakabaka bwa Buganda mu lukungaana luno,agambye nti Enteekateeka y’okulwanyisa siriimu Obwakabaka bugikwaasizza maanyi, nga muno mulimu okutuusa emisomo ku bantu bonna abalina obulwadde n’abatalina nga basinziira mu bitundu gyebali.
Katikkiro mungeri eyenjawulo asabye abetabye mu kukungaana nti Obuwangwa n’Ennono nabyo birowoozebweko mu kulwanyisa siriimu, ekiruubirirwa kya Ssaabasajja Kabaka ekyokumegga Mukenenya kituukirire.
Minister w’abavubuka, ebyemizannyo n’Ebitone Owek Robert Sserwanga Ssalongo , agambye nti okulwanyisa Mukenenya n’entekateeka endala zonna kulina kuyisibwa mu nnimi zebategeera, n’Okumalawo obusosoze mu betaaga obujjanjabi.
Bisakiddwa: Kato Denis