Minister w’Obuwangwa, ennono n’obulambuzi Owek. Anthony Wamala asisinkanye Olukiiko lw’Embuga ya Kisekwa oluggya.
Ensisinkano eno yesoose bukyanga olukiiko luno luloondebwa ku nkomerero y’omwaka oguwedde 2024.
Owek. Wamala abasibiridde entanda yakukolera awamu nga bakulembeza obwerufu, obwesimbu, amazima n’okwekeneenya, ku nsonga zonna ezibatuusibwako mu mirimu gye bagenda okukola.
Olukiiko oluggya lutuulako abakiise 7, okuli Omuk. Dr. Robert Ssonko – Kisekwa, Omuk. Salim Makeera Mumyuka wa Kisekwa ate Omuk. Lubega Ssebende ye Muwandiisi w’eddiiro.
Abakiise abalala : Omuk. Andrew Kibaya, Omuk. Dan Kyagaba, Omuk. Samuel Walusimbi, Omuk. Jamiru Ssewanyana.#