Olukiiko lwa Buganda olwa 31 nga lukubirizibwa Owek Patrick Luwagga Mugumbule, mu lutuula lwayo olusoose, luyisizza ebiteeso 5 mwerusiimidde Maasomooji Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll, Olw’Okulambika Obulungi Obuganda bweyasiima naggulawo olukiiko lw’Omulundi ogwa 31.
Mu biteeso ebyanjuddwa minister w’Olukiiko Cabinet n’ensonga ezenkizo mu yafeesi ya Katikkiro Owek Noah Kiyimba, ollukiiko luyisizza ekiteeso nga lusaba Bajjajja abataka abakulu b’Olusobya okufuna okulungamizibwa kwa Ssaabasajja Kabaka Ssabataka nga tebanaba kubaako nsonga zonna zakwekulaakulanya zebeenyigiramu , wamu n’Okulaba nga Ssaabataka abalungamya ku nsonga zonna ez’Olukiiko lw’Abataka.
Olukiiko lwebazizza Ssaabasajja Kabaka olwa kaweefube gwakulembeddemu mu myaka 30 mu kuzza Buganda ku ntikko, omuli okutumbula ebyobulamu, ebyobulimi n’Omutindo gw’embeera z’abantu mu bulamu bwabwe Obwa buligyo.
Olukiiko era lusembye nti ensonga enkulu ennyo ezirimu okulambika kwa Ssaabasajja Kabaka zongere okutesebwaako mu bukiiko bw’Olukiiko obwenjawulo.
Olukiiko lwebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima nalonda ba minister abaggya mu Bwakabaka, era lwebazizza abaami abawummudde olw’ettoffaali lyebatadde ku kaweefube w’Okuzza Buganda ku ntikko.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ng’asinziira mu lukiiko luno agambye nti ensisinkano y’Abamu ku bataka n’Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eyagendereddwamu okubafunira ettaka ly’Ekitebe kyabwe temanyiddwa Bwakabaka, era Ssaabasajja Kabaka teyasoose kutegeezebwa ku nsonga eno.
Kamalabyonna bwaatyo alambise nti mu kiseera ekitali kyawala , wagenda kubaawo ensisinkano eyenjawulo okugunjoola ensobi eyakoleddwa, kyokka naasaba abataka obutatwalibwa muyaga.
Katikkiro awadde abakulembeze mu Bwakabaka amagezi okwefumiitiriza ku kiragiro kya Beene eky’Okwetegereza Obuweereza bw’abaami bonna,n’Okweewala enkwe ezigotaanya Obuganda.
Abamu ku bakiise mu lukiiko lwa Buganda omubadde Omulangira Rolad Mulondo Kangawo akulemererako Beene essaza asabye olukiiko lukubaganyizza ebirowoozo ku kiteeso ky’Abazadde mu Buganda okutandika okuwa abaana baabwe emisiri gy’Emwaanyi, nga amawanga amalala bwegawa abaana ensolo n’ettaka.
Abakiise abalala omubadde Owek Mulwana Kizito , basabye government ya wakati, nti yeetegereze etteeka erigenda okuvunaana abalimi b’Amayirungi liddemu likolebwemu ennoongosereza.
Mu kusooka wabaddeo okukuba ebirayiro okuva mu b’ebitiibwa abagya, okubadde Owek Anthony Wamala minister w’ebyobuwangwa n’Ennono, embiri n’ebyokwerinda , minister w’Abavubuka ebyemizannyo n’Ebitone Owek Robert Sserwanga Ssalongo, Owek Ahmed Magandaazi Kaggo, Owek Jane Nakiyinji akiikirira abantu ba Kabaka e Busoga, wamu n’Owek Samuel Mukiibi Ssempebwa akiikirira essaza lye Rwenzori balayidde okuweereza Beene awatali kumutiiririra.
Olukiiko luno lwetabiddwaako ba minister ba Ssaabasajja, abaami b’Amasaza, abakulira ebitongole by’Obwakabaka n’abantu kinoomu.
Bisakiddwa: Kato Denis