
Olukiiko lwa Buganda olutudde nga 04 May,2026 luyisizza ebiteeso 9, ebyesigamiziddwa ku kwogera kwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, mwalambikidde embeera bweyimiridde mu Buganda.
Ebiteeso bino bisomeddwa Minisita w’Olukiiko, Kabineti, Abagenyi era nga yavunaanyizibwa ne ku nsonga ez’enkizo mu Office ya Katikkiro Owek. Noah Kiymba.
1. Olukiiko luyozaayozezza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okutuuka ku mazaalibwa ge ag’emyaka 71, neruwanjagira Katonda amwongere emirala mingi.
2. Abakiise basanyukidde n’okwaniriza okwogera kwa Katikkiro ku mbeera nga bweyimiridde mu Bwakabaka, mwalambikidde emirimu egikoleddwa ate n’egigenda okukolebwa mu biwayi ebyenjawulo.
3. Olukiiko luyozaayozezza Katikkiro Charles Peter Mayiga olw’okuweza emyaka 13 ng’akutte Ddamula, era abakiise bamwebazizza olw’obukulembeze bwe obulungi, olw’obuwabuzi bwe n’obugumiikiriza eri abalala.
4. Olukiiko lwanirizza nnyo enkolaya Situla Omutindo n’emiramwa mwesimbye omuli eby’obulimi, ebyenjigiriza ebyobulamu, embeera z’aantu mu maka, obwegassi, obusuubuzi n’okukuza ebitone.
5. Olukiiko luvumiridde enkozesa y’obuveera enkyamu eviiriddeko okwonoona obutonde bw’ensi ne lusaba wabeewo enteekateeka ezikolebwa okukalwanyisa.
6. Olukiiko lusembye Katikkiro okugenda mu maaso n’okubanja government eyaawakati ensimbi z’ebbanja ly’Obwakabaka, ezisasule emirimu gy’Obwakabaka gisobole okutambula.
7. Olukiiko luvumiridde ensonga y’abyebyokwerinda okukwata abantu naddala bannabyabufuzi nebabatikka mu mmotoka z’ekika kya Drone nga tebagoberedde mateeka na mitendera mwebalina okuyita, ssinga omuntu aba azzizza omusango.
8. Olukiiko lusembye Katikkiro okutegeeza governemnt eyaawakati mu ngeri entongole, naddala mu kisanja ekipya 2026 -2031, okulwanyisa enguzi mu baweereza ba government ku mitendera gyonna.
9. Olukiiko luvumiridde obuwaayiro obwassiddwa mu bbago ly’etteeka ly’Obwetengereze ( protection of Sovereinty bill 2026), obuyinza okulemesa enteekateeka z’Obwakabaka era lusembye ebirowooza Ssaabawolereza wa Buganda byeyawaddeyo mu gavumenti eyaawakati.











