• Latest
  • Trending
  • All
Olukiiko lwa Buganda luyisizza ebiteeso 6 – lusembye ekya government okusazaamu endagaano y’emmwanyi gyeyakola ne Vinci

Olukiiko lwa Buganda luyisizza ebiteeso 6 – lusembye ekya government okusazaamu endagaano y’emmwanyi gyeyakola ne Vinci

May 9, 2022
Ssaabasajja Kabaka asaasidde ab’enju y’omugenzi Eng.Robert Hubert Kibuuka

Ssaabasajja Kabaka asaasidde ab’enju y’omugenzi Eng.Robert Hubert Kibuuka

September 22, 2023
Omujaasi wa UPDF asse mukyala we n’abantu abalala 3 – abalala bali mu ddwaliro

Omujaasi wa UPDF asse mukyala we n’abantu abalala 3 – abalala bali mu ddwaliro

September 22, 2023

FIFA efulumizza olukalala lw’amawanga agasinze okucaanga endiba mu 2023 – Uganda eri mu kifo kya 89

September 22, 2023
Enkola ya nnaasiwa mu kange eyonoonye obuweereza – Msgr Charles Kasibante

Enkola ya nnaasiwa mu kange eyonoonye obuweereza – Msgr Charles Kasibante

September 22, 2023
Omutuuze asangiddwa afiiridde mu musiri gw’ennyaanya e Kalungu

Omutuuze asangiddwa afiiridde mu musiri gw’ennyaanya e Kalungu

September 22, 2023
Ababadde befuula abakwasisa amateeka nebawamba bodaboda mu Kampala bakwatiddwa

Ababadde befuula abakwasisa amateeka nebawamba bodaboda mu Kampala bakwatiddwa

September 22, 2023
FDC ewandiisizza 77 okuvuganya ku bukulembeze obwokuntikko – Nandala Mafaabi tavuganyiziddwa

FDC ewandiisizza 77 okuvuganya ku bukulembeze obwokuntikko – Nandala Mafaabi tavuganyiziddwa

September 21, 2023
Okusabira Eng.Hubert Kibuuka – obulamu bwe bubadde bwabibala

Okusabira Eng.Hubert Kibuuka – obulamu bwe bubadde bwabibala

September 21, 2023
Abe Buduuda batandise okuweebwa shs obukadde 7 basenguke mu nsozi – abamu bazigaanye

Abe Buduuda batandise okuweebwa shs obukadde 7 basenguke mu nsozi – abamu bazigaanye

September 21, 2023
Omusinga Charles Wesley Mumbere tanatuusa kuddayo Rwenzururu – wakusooka kusisinkana mukulembeze w’eggwanga

Omusinga Charles Wesley Mumbere – asuubirwa 4th October,2023 okudda mu Businga oluvannyuma lw’emyaka 7

September 21, 2023
Eng.Hubert Robert Kibuuka: 1951 – 2023

Eng.Hubert Robert Kibuuka: 1951 – 2023

September 21, 2023
IGG afulumizza alipoota ku nguzi – asabiddwa anoonyereze ku Parish Development model

IGG afulumizza alipoota ku nguzi – asabiddwa anoonyereze ku Parish Development model

September 20, 2023
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Olukiiko lwa Buganda luyisizza ebiteeso 6 – lusembye ekya government okusazaamu endagaano y’emmwanyi gyeyakola ne Vinci

by Namubiru Juliet
May 9, 2022
in Amawulire, BUGANDA
0 0
0
Olukiiko lwa Buganda luyisizza ebiteeso 6 – lusembye ekya government okusazaamu endagaano y’emmwanyi gyeyakola ne Vinci
0
SHARES
111
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Owek.Patrick Luwaga Mugumbule Sipiika w’olukiiko lwa Buganda

Olukiiko lwa Buganda luyisizza ebiteeso mukaaga mu lutuula olw’okusatu olw’omwaka ogwa 29,nerusemba endagaano yeyakolebwa wakati wa government eya wakati ne kampuni ya Vinci coffee co. ltd esazibwemu.

Ebiteeso ebiyisidwa mu lukiiko luno, olukiiko lwenyamidde nnyo olw’endagaano eyakolebwa wakati wa government n’omusiga nsimbi gwebagambye nti talina ssente za kukulakulanya obusubuuzi bw’emmwanyi mu Uganda.

Olukiiko lwa Buganda lusembye endagaano eno esazibwemu nti kuba terina nkulakulana yonna gyegenda kuleeta eri abantu ba Buganda ne Uganda yonna.

Olukiiko lusembye Katikkiro okulondoola ensonga y’okuteekawo ttabamiruka w’abalimi b’emmwanyi bonna mu Uganda,n’ekigendererwa eky’okutema empenda ezokuyamba bannauganda okusigala mu bulimi n’obusuubuzi bw’emmwanyi

Olukiiko luvumiridde abantu abatulugunya abavubi, abalunjanja, nabalunzi b’ebyenyanja n’ekigendererwa ky’okwagala okubagoba mu nnyanja n’okubagoba mu mulimu gw’okulunda ebyenyanja.

Olukiiko lusembye obwakabaka okuteekawo enkola enayamba okulambika abantu ku nsonga y’ennyimbe mu Buganda awamu n’okubabangula ku byo busika,  n’ebiteeso ebirala.

Olukiiko lusembye nti mu ngeri eyenjawulo luseewo amaanyi mu kugunjula n’okutendeka omwana ow’obulenzi mu Buganda.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga

Mu lutuula luno Katikkiro ategeezezza obuganda nti Ssaabasajja Kabaka yasiimye okusimbula emisinde gy’amazaalibwa ge ag’omulundi ogwe 67, nga 03rd July,2022.

Wabaddewo okugenda mu maaso mu nkola y’emirimu mu bwakabaka nga besigama ku nteekateeka namutayika ey’omwaka 2018 okutuuka 2023, era emirimu ebitundu 91% gikoleddwa, era nga wasigaddeyo omwaka gumu namutayiika ono okugwako.

Abamu ku bakiise b’olukiiko lwa Buganda

Egimu ku mirimu Katikkiro gy’ayanjulidde Obuganda egikoleddwa ekiseera ekiyise kubaddeko okwongera amaanyi mu kuyoyoota amasiro ge Kasubi era nakakasa Obuganda nti omwaka guno omulimu guno gwa kuggwa.

Enteekateeka y’okulwanirira obutondebwensi eyongeddwamu amaanyi nga emiti akakadde kamu n’omusobyo gisimbiddwa.

Omumyuka asooka owa Katikkiro OwekTwaha Kawaase (ku kkono) n’owek Noah Kiyimba minister w’olukiiko era omwogezi w’obwakabaka

Obwakabaka buzimbye ennyumba 12 eri abantu abetaaga okubeerwa, Ssettendekero wa Muteesa 1 Royal University essaawa wonna agenda kufuna Charter era emisoso gyonna gyawedde okukolebwako.

Amalwaliro asatu agazimbidwa obwakabaka essaawa yonna gatandika okuweereza.

Ekitongole ky’obwakabaka era kirondeddwa nga ekitongole ekisinze okukunganya omusaayi munsi yonna, era kiweeredwa engule okuva eri International Division of America’s Blood Centers.

Engule ekiweereddwa eyitibwa Blood Drive Partner of the year 2022 Award, era ssenkulu w’ekitongole kino Omukungu Edward Kaggwa Ndagala ali mu America okufuna engule eno.

Owek Prosperous Nankindu Kavuma minister w’ebyobulamu n’owek.Kiwalabye Male minister w’obuwangwa

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akakasiza Obuganda nti obwakabaka bwa Buganda butandisewo office za banampala ku buli mbuga y’essaza n’ekigendererwa ky’okusitula obuwereza bw’obwakabaka mu masaza gonna.

Agambye nti obwakabaka bwakusasula omusaala banampala bano, naasaba abakulembeze mu masaza gano okukolagana nabo obulungi.

Minister w’ettaka n’obutonde bwensi Owek.Mariam Mayanja, n’Omubaka wa parliament owa Kalungu West Ssewungu Gonzaga

Katikkiro era alabudde abakulembeze b’obwakabaka ku mitendera gyonna okubeera abegendereza ku ndagano zebakola nga bakiikiridde obwakabaka, nabasaba okusookanga okwebuuza ku kitongole kya Buganda Royal Law Chambers nga tebanakola nsobi mu ndagaano zino.

 

Bisakiddwa: Issah Kimbugwe

 

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ssaabasajja Kabaka asaasidde ab’enju y’omugenzi Eng.Robert Hubert Kibuuka
  • Omujaasi wa UPDF asse mukyala we n’abantu abalala 3 – abalala bali mu ddwaliro
  • FIFA efulumizza olukalala lw’amawanga agasinze okucaanga endiba mu 2023 – Uganda eri mu kifo kya 89
  • Enkola ya nnaasiwa mu kange eyonoonye obuweereza – Msgr Charles Kasibante
  • Omutuuze asangiddwa afiiridde mu musiri gw’ennyaanya e Kalungu

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist