Entambula esannyaladde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka mu kitoogo ekiri wakati wa Kyengera ne Buddo, oluguudo luguddemu ebidduka tebisobola kusala.
Enkuba efudembe ku makya ga Sunday nga 21 April, 2024 yeruviiriddeko okugwamu.
Police y’ebidduka ng’ekolaganira wamu n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo ekya Uganda National Roads Authority bisazeewo okuggala oluguudo luno, olw’abagoba b’ebidduka ababadde basaliinkiriza okuyitawo wadde nga luli mu mbeera mbi.
Omwogezi wa poliisi yébidduka mu ggwanga Michael Kananula agambye nti abagoba b’ebidduka bakugira nga bakozesa enguudo eziriraanyeewo okutuuka e Kampala, n’okugenda e Masaka
Basobola okuyita ku luguudo lwe Nakawuka baggukire e Buddo oba e Kitemu bagatte ku Masaka road.
Abalala basobola okumozesa olwa Nsangi nebagwa e Buloba ku Mityana Road nebeyongerayo e Kampala oba e Mityana.
Oluguudo luno oluva e Kampala okudda e Masaka luzze lubbotoka mu bitundu ebyenjawulo nerutaataaganya ebyentambula.
Omwaka oguyise ogwa 2023 lwabotokera mu kitoogo ekiri mu ttaawo eri wakati wa Busega ne Kyengera, so nga n’olutindo lwe Katonga lwabotoka era kitundu oluguudo nerugwamu ekyasannyalaza entambula ku luguudo olwo okumala emyezi 9. #