Abakulembeze mu district ye Wakiso basazeewo okuggala oluguudo oluva e Buloba okudda e Nsangi, oluvanyuma lwa mazzi okwanjala negaziba oluguudo.
Engineer wa district ye Wakiso Mwesigwa Sam ategeezezza nti kino bakikoze okutaasa abantu ababadde bayinza okufunira obuzibu ku luguudo luno.
Ekkubo lino lissala mu mugga Mayanja ogumanyiddwa ennyo okwanjaala buli nkuba lwetonnya negutaataganya ebyentambula mu bifo yonna gyeguyita.
Ssentebe wa District eye Wakiso Matia Lwanga Bwanika, anenyezza ebitongole naddala ekya NEMA, ebiwa abantu olukusa okuzimba ku mugga guno, ate wamu ne police abaayisa Cable za Camera mu bigoma nezikwata ebitoogo nezibiremesa okutambula olwo nebizibikira emiddumu.
Ssentebe Bwanika, ategeezezzanti mukaseera kano tebalina wadde ennussu essobola okweyambisibwa okutaasa ekitundu era nategeeza nti ekkubo lijja kusiggala nga liggale okutuusa nga baduukiriddwa.
Kyokka enginiya Kiwanuka Joseph Mukiibi nga yavunanyizibwa ku makubo gómubibuga mu ministry yebyentambula n’enguudo, ategeezezza nti balinda district ye Wakiso ebawandiikire balabe webatandikira okujikwasizaako ku luguudo luno.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred