Abatuuze abakozesa oluguudo oluva e Najjanankumbi okudda e Busaabala bongedde okufuna akasekonku ku matama, lutandise okuyibwako kkoolaasi.
Oluguudo luno lubadde lumaze ebyeya n’ebisiibo ng’abatuuze be Busaabala baalajana olw’ebinnya n’enfuufu ebadde efuumuuka neyingira mu buli kasonda.
Eyaliko ssentebe district ye Wakiso Ian Kyeyune, yoomu ku balozezza ku bukaawu bw’abatuuze olw’okulwawo okukolebwa kw’oluguudo luno.
Abatuuze baamunaabira mu maaso nebamuyiira enfuufu yenna.
Ssentebe w’egombolola ya Makindye Ssaabagabo Kiyaga John Baptist agambye ebbanga lyebagumiikirizza ng’oluguudo luno terukolebwa, libadde ddene neyebaza aba UNRA okutuukiriza omulimu.
Ebyalo okuli Kibiri, Gangu, Kibira, Masajja, Busaabala n’ebirala bye bimu ku biganyulwa mu luguudo luno, luva Najjanankumbi okutuuka ku mwalo e Busaabala.
Ekitongole kya UNRA kyekivunaanyizibwa ku luguudo.#