Kkooti enkulu e Masaka etaddewo olwa nga 13 omwezi ogujja ogwa February okulamulirako okusaba kw’ababaka okuli owa Makindye West Allan Ssewannyana ne Muhammad Sseggiriinya owa Kawempe North oba bakkirizibwa okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti.
Ababiri bano baggulwako emisango gy’obutujju n’okutta abantu nga bakozesa ebijambiya naddala mu bbendobendo ly’e Masaka.
Omulamuzi Lawrence Tweyanze ali mu mitambo gy’omusango guno, alagidde nti omubaka Ssewannyana akkirizibwe okutwalibwa mu ddwaliro erisobola okumuwa obujjanjabi obw’ekikugu bweyeetaaga essaawa eno.
Omulamuzi Tweyanze okulamula bwati, kivudde ku ba ppuliida b’ababaka okumusaba abeeko ky’alamula ku nsonga y’ebyobulamu bw’ababaka etali nnungi.
Wabula wabaddewo kalumannywera ku nsonga y’omusango guno, ng’omulamuzi ayagala okukitegeera oba nga ddala enjuyi zombi zeteeseteese bulungi okwewozaako ku nsonga z’emisango egiri mu kkooti ebbiri; ey’e Kampala ewozisa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna ate n’eye Masaka.
Kino kireetedde oludda oluwaabi okusaba omulamuzi asooke abaweeyo obudde babeeko byebeetegereza n’okwekkaanya.
Wabula ppuliida w’ababaka bano, Ssaalongo Erias Lukwago alaze ennyiike ku kyayise okubazannyisa jangu onkwekule, ng’agamba nti emisango egyaggulwa ku babaka gyegimu, nga tewali nsonga egireetera kuwulirwa mu kooti ez’enjawulo.
Lordmayor abadde aleese eyali omubaka wa parliament Kasibante Moses, omubaka Joseph Gonzaga Ssewungu, omubaka Derrick Nyeko, omubaka Godfrey Kayemba Solo, eyali omubaka Patrick Nsanja ne maama Sewannyana (Mukyala Ssendawula) okweyimirira ababaka.
Omuloodi Lukwago agambye nti newankubadde bizze bwebiti, tebajja kussa mukono okutuusa ng’ababaka bafunye obwenkanya naddala ku nsonga y’okuyimbulwa ku kakalu.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K