Akakiiko kebyokulonda aka Uganda Electoral Commission katandise okuwandiisa abakyala bonna abali ku byalo abaweza emyaka 18 n’okudda waggulu, abaneetaba mu kulonda obukiiko bw’abakyala okutandikira ku byalo.
Okuwandiisa abakyala bonna kugenda kumala ennaku nnya,ate okulonda kutandika mwezi ogujja ogwa July.
Paul Bukenya omwezi wakakiiko kebyokulonda akunze abakyala bonna gyebali mu ggwanga labaweza emyaka 18 nokweyongera bagende ku byalo byabwe beewandiise bassibwe ku alijesita yábanetaba mu kulonda okwo.
Ebimu ku bisaanyizo ebyetagisa, olina okuba némyaka 18 okudda waggulu, endaga muntu, era ngooli mutuuze ku kyalo ekyo.
Okusinziira ku tteeka erifuga okulonda kwabakyala ,abavubuka ,abaliko obulemu wamu n’abakadde okwa ‘electoral college’ ,okulonda kuno kutandira ku byalo ,olwo ababeera balondeddwa nebeerondamu olukiiko lw’omuluka.
Abalondeddwa ku muluka beberondamu olukiiko lw’eggombolola ,abegombolola beberondamu aba district ,munisipaali nebibuga ,songa abalondeddwa ku mutenderwa ogwo bebeerondamu olukiiko lw’eggwanga lwonna.
Obukiiko bwabakyala bukulembera ekisanja kya myaka 4. Ekisanja ekiriko kyatandika mu August wa 2018, era kigwako mu August yómwaka guno 2022.
Abakulembeze bábakyala mu bibiina byóbufuzi ebitali bimu bagala akakiiko ke byokulonda kabanyonyole ebyalo ebipya ebyayongerwa mu nteekateeka y’akakiiko kano bamanye ekyokukola.
Hamidah Nasimbwa omu kubakulembeze bábakyala mu kibiina kya Alliance for National Transformation agambye nti abakyala ,bakyetaaga okusomesebwa okumanya bukulu bwébifo byebagenda okuvuganyako nókwetaba mu kulonda,nti kubanga bangi tebamanyi mugaso gwa bukiiko bwábakyala.