Enteekateeka ya government ey’okuleeta kuno number plates empya eza Digital ebadde essuubirwa okutandika nga 01 July,2023, egenda kwongezebwaayo okutuuka mu mwezi gwa October 2023.
Kigambibwa nti kampuni ya Joint Stock Company Global Security eya Russia, eyali yaweebwa omulimu ogw’’okuzireeta ekyalemereddwa okugutuukiriza.
Government ng’eyita mu bitongole byayo okuli ministry y’eby’eby’entambula ne Ministry y’obutebenkevu yategeeza nti enteekateeka ey’okuguza banaUganda number plates empya yali yakutandikirawo ku ntandikwa y’omwaka gw’ebyensimbi 2023/2024.
Wabula Minister omubeezi ow’eby’entambula Fred Byabakama agambye nti obuzibu bw’avudde ku kampuni eyawebwa omulimu okuba nti tenaleeta number plate ezo, nategeeza nti bagenda kusisinkana Ssabawolereza government okubakkiriza okwongezaayo entaketeeka eno okutuuka mu mwezi gwa October 2023.
Minister Fred Byabakama ategezeza nti bagenda kusisinkana n’abakampuni eya Joint Stock Company Global Security okubabuuza obuzibu webwavudde basalewo ekiddako.
Bino w’ebigidde nga ne kampuni ezibadde zifulumya number plate enkadde okuli eya GM TUMPECO LTD ne Arnold Brooklyn nga zekubira enduulu mu offiisi ya kaliisoliiso wa government, nga zemulugunya ku ngeri government gyeyali eyagala okusazaamu endagaano zabwe.
Minister Fred Byabakama ategezeza nti kampuni enkadde ezibadde zikola number plates zigenda kusigalawo nga zireeta number plates ku bbeeyi eyabulijjo, okutuuka mu October.
Enteekateeka eno ey’okuleeta number plate za digital empya, yava ku kiragiro ky’omukulembeze weggwanga kyeyawa oluvanyuma lw’ettemu lyemmundu eryali likyase mu ggwanga
Endagaano eyawa kampuni eno eya Russia kontulakita, yassibwako omukono mu mwaka gwa 2021, nga yali yakutandika nga 01 July, ku ntandikw y’omwaka gw’ebyensimbi omuggya ogwa 2023/2024.
Mu ndagaano eno, namba eza digita zaalinyisibwa okuva ku mitwaalo egisoba mu 10, gyegula mu kiseera kino okutuuka ku mitwaalo 73.
Kontulakita, yakumala emyaka 10 nga kampuni yakusaamu ensimbi obuwumbi bwa shs 950.
Obuuma obugenda okuteekebwa ku bidduka, bwakukwataganyizibwa ne Camera za Police eziri ku nguudo, nga buli kidduka ekirina akuuma ako, kirondoolwa buli wekiri.
Okusinziira ku ndagaano, engassi government zenaasolooza ku bagoba b’ebidduka abamenya amateeka gokunguudo, zeggya okukwatanga eziwe kampuni ya Russia eya Joint Stock Company Global Security company ng’amagoba gaayo.
Okuvuga endiima engasi ya shillings 250,000, omugoba w’ekidduka okukyukira watalina kukyukira engasi ya shillings 70,000 nokwebalama ebitaala bya traffic engasi ya shillings 130,000, obutasiba musipi shs 80,000 n’emisango gy’ebidduma emirala.
Kampuni eno eya Joint Stock Company Global Security company eya Russia esuubirwa okukungaanya amagoba ga trillion 3 n’obuwumbi 600 mu bbanga lyamyaka 10 gyegenda okumala ng’eddukanya omulimu gwokuteeka obuuma obulondoola ebidduka mu ggwanga.
Ensimbi zino zaabalirirwa nga zisinziira ku ndagaano, ne alipoota y’akakiiko ka parliament akalondoola ebyentambula, gyeyakola oluvanyuma lwokunoonyereza ku ndagaano eno.#