
Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu bawagizi ba meeya wa Makindye Kasirye Ali Nganda MulyaNyama ababadde bamuwerekera nga agenda okusunsulwa okuddamu okwesimba kukifo kyalimu. Mulyanyama bw’amalirizza okusunsulwa Poliisi temukkirizza kuddayo mubawagizi be ababadde bamulindiridde era nga alagiddwa okuvuga nga adda ku kitebe kya Divizoni ye Makindye. Entebbe nayo abantu mwenda basunsuddwa ku bwa meeya bwekibuga kino so nga ne ssentebe we Wakiso Matia Lwanga Bwanika naye asunsuddwa akakiiko