Police erangiridde nti egenda kuggala enguudo ezimu embalirira y’eggwanga eyo mwaka 2025/2026 bwenaaba esomebwa mu butongole mu kisaawe e Kololo.
Minister w’Ebyenfuna n’okuteekeerateekera eggwanga Matia Kasaija asuubirwa okusomera eggwanga embalirira yomwaka 2025/2026 esoba mu trillion 72, eyayisibwa edda Parliament.
Omwogezi wa police y’ebidduka Michael Kananura agambye nti oluguudo lwa Upper Kololo lwakuggalwa, ate olwa Lower Kolola abavuzi b’ebidduka tebajja kukirizibwa kuluyungako, so nga olwa Kampala – Jinja ne John Babiha Sako Yusuf Lule zzo sizaakukosebwa.
Enguudo ezikoseddwa zakuggalwa okuva ku ssaawa 11 ezokumakya okutuuka ku saawa emu ey’akawungeezi.
Kananura agambye nti abakungu abagenda okwetaba mu kusoma embalirira y’omwaka guno 2025 /2026 basabiddwa okukozesa Western Gate ne Eastern Gate okuyingira e Kololo mu kisaawe.