Omumyuka asooka owa ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajji Moses Kigongo bwabadde asisinkanye abatuuze b’e Maddu mu Gomba agambye nti olutalo lwebasitudde ku banyazi b’ettaka essaawa yonna bagenda kuluwangula bannansi beeyagalire ku ttaka lyabwe.
Kigongo agambye nti government teyinza kutunula butunuzi nga bannansi bafuuka emmomboze mu nsi yaabwe, bwatyo n’alagira ba RDC bonna okuggyayo n’agomubuto okukakasa ng’ensonga eno enogerwa mangu eddagala.
Alabudde abamu ku ba ssentebe b’ebyalo abeekobaana n’ababbi b’ettaka nti nabo baakukolwako bagololwe ettumba.
Bibadde mu nsisinkano eyategekeddwa ssaabakunzi w’ekibiina kya NRM Rose Mary Ssenninde, emu ku nteekateeka gyebaliko ng’ekibiina okuzzaamu bammemba amaanyi n’okwongera okusaggula obuwagizi mu banna Uganda.
#