Jjajja wóbuyisiramu Omulangira Dr. Khassim Nakibinge Kakungulu Mbuga, yeyanzizza Ssabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda olw’amaanyi ne kawefube yenna gwataddewo mu kulwanyisa endwadde ez’enjawulo mu bantu be.
Omulangira Dr Khassim Nakibinge Kakungulu Mbuga, asinzidde ku kasozi Kibuli mu kusaala Idd Al Fitil Al Mubarakah, nayozayoza Omuteregga okuweza emyaka 68.
Era ámwebaza enteekateeka zataddewo okulwanirira ebyóbulamu naddala okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya nga ayita mu misinde gyámazaalibwage n’enteekateeka endala.
Jjajja Mbuga era wano wasinzidde náteeka government ya Uganda ku nninga okwongera amaanyi mu byóbujjanjabi naddala okuteeka eddagala mu malwaliro, kisobozese naddala abantu ba bulijjo okufuna obujjanjabi ewatali kukalubirizibwa.
Omulangira Khassim Nakibinge Kakungulu mu mbeera yeemu akinoganyizza nti ekiseera kituuse government eyimbule abantu bonna abali mu makomera abaakwatibwa olwébyobufuzi, ebasonyiwe oba batwalibwe mu mbuga za mateeka basalirwe ebibonerezo.
Obubaka bwa Ssabasajja Kabaka obuyozayoza abayisiramu okumalako omwezi guno ogwékisiibo busomeddwa omumyuka asooka owa Katikkiro Owek Prof Dr Al Hajji Twaha Kawaase Kigongo.
Supreme Mufuti wa Uganda Sheikh Shaban Muhammad Ggalabuzi, avumiridde omuze gw’omukwano ogw’ebikukujju nagamba nti omulimu omunene ogw’okugoba emuze guno gusigadde eri bannaddiini, abazadde n’abakulu bamasomero kuba parliament yamala ogwaayo.
Akulembeddemu okusoma Khuttubbah Sheikh Abdul Hafiizi Musa Walusimbi, asabye abasiramu okusigala nga bakola emirimu emirungi gye babadde bakola mu kisiibo.
Okusaala ku muzikiti e kibuli kwetabiddwako omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Ahmed Lwasa, Owek Hamis Kakomo, minster wa micro finance Kyeyune Harunah Kasolo, akulira bamaseeka mu ggwanga Abdul Noor Lunanooba nabalala bangi.
Oluvannyuma lw’okusaala Omulangira Nakibinge agabudde abasiraamu ekijjulo.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe