Abaddu ba Allah abasiraamu basadde Eid Adhuha, era obubaka bwabwe obusinga butaambulidde kukuwanjagira Allah ataase bannauganda obwavu n’ekitta bantu ekiyitiridde.
Banokoddeyo abayizi b’essomero lya Mpondwe Lhubiriha SS mu district y’e Kasese, abagambibwa okuba nti baalumbibwa abayeekera ba ADF nebabatemaateema n’okubakumako omuliro, 44 nebasirikka saako bannauganda abalala bangi abazze babuzibwawo nebasibwa mu makomera abalala nebaddamu kumanyibwako mayitire.
Jjaja w’obusiraamu Omulangira Dr. Kasimu Nakibinge Kakungulu abadde ku kuziki e Kibuli n’asaasira family z’abaana abo, n’asaba ebitongole ebikuuma ddembe okutukiriza obuvunanyibwa bwabyo obwokuuma bannauganda ne bintu byabwe.
Abawadde amagezi obutamalira budde bungi mu kubega abantu abakola emirimu gyabwe mu bwesimbu, wabula amaanyi bagamalire ku bakozi b’ebikolobero.
Supreme Mufti wa Uganda Sheik Shaban Ramathan Galabuzi asabye abasiraamu okwongera okuvugirira obusiraamu bwabwe era bave mukwerumaluma busobole okugenda mu maaso, nabalijja babusange nga bw’amaanyi .
Omuloodi wa Kampala Salongo Erias Lukwago alaze obutali bumativu olwobwenkanya obubuzze mu ggwanga lino,naloopera Jjajja Mbuga nga bwewaliwo abasiiramu abakwatibwa nebakuumibwa mu makomera ewatali kuleetebwa mu kooti kufuna bwenkanya.
Sheik Ishaaq Mutengu ,nga yakulembeddemu okusaaza swallat Eid kasozi Kibuli asabye government okwetereeza ku bikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu ebikolebwa abasirikale baayo.
Mu ngeri yeemu Abakulembeze b’obusiraamu baagala president Museveni ayanguyirizeko okuteeka omukono ku bbago ly’eteeka erya Financial Institutions (Amendment) Bill 2023, lyebagamba nti lyerigenda okubajja mu bwavu.
Parliament eyabadde ekubirizibwa speaker Annet Anita Among, yayisizza ebbago ly’eteeka erimanyiddwa nga Financial Institutions (Amendment) Bill 2023, nga lino ssinga liteekebwako omukono, lyakuwagira enkola ya Islamic banking okutandika okukozesebwa mu Uganda.
Mufti wa Uganda, Sheik Ramadthan Mubajje, asinzidde mu kusaala Eid ku Kampala mukadde, naagamba nti enkola ya Parish Development Model, (PDM), government gyeyaleeta nti abasiraamu tebasanyusa kuba amagoba agajirimu mangi ssonga ennono z’obusiraamu tezikiwagira
Imam w’omuzikiti gwe Wandegeya, Shk Ali Kizza Kasule, agambye nti eteeka lino ssinga president aliteekako omukono, kyakutumbula embeera z’abasiraamu bangi mu Uganda.
Mungeri yeemu ne Sheik Hassan Ibrahim Ssemakula, Imam w’omuzikiti gwe Kawempe, agambye nti enkola ya Islamic banking babadde bajirindiridde okumala ebbanga, nti kuba tekkiriza magoba gasukiridde, nga bank z’ebyobusuubuzi eziriwo kyezikola.
Abasiraamu abenjawulo basse ebisolo mu kukuza olunaku luno okwa Eid Adhuha, nga bajjukirwa ekikolwa kya Nabbi Ibrahim eyali asazeewo okusadaaka omwana we Isaac, Allah naamusaasira n’amuwaamu akaligo kabeera asala.
Abantu ababadde tebalina busobozi busala kisolo, nabo babatonedde ebisolo ebitambula oba ennyama.
Bisakiddwa: Ddungu Davis ne Lubega Mudashir