Kooti ewozesa abakenuzi nábalyake esindise mu nkomyo eyali omukulu wéssomero lya Centenary High school e Masaka Rosemary Akujo, yebakeyo emyaka ena, lwakusingisibwa musango gwakwezibika obukadde bwa shs obusoba mu 90.
Ensimbi zino zaali zaasasulwa abayizi okutuula ebigezo byákamalirizo ebya UNEB mu mwaka gwa 2016 ne 2017.
Abayizi baalemererwa okufuna ebyava mu bigezo byabwe, olwómukulu wéssomero obutasasula nsimbi ezo, wadde abayizi bbo baali baazimuwa.
Sso ngéra yaviirako néssomero eryo okusazibwamu obutaddamu kutuulizaawo bayizi.
Obujulizi bwonna obuleeteddwa omuwandiisi wéssomero eryo, Bursar,abaaliko abayizi, nómutandisi wéssomero bumatizza omulamuzi.
Omulamuzi Moses Nabende amusalidde emyaka ena ngaali mu kkomera, ate nálagirwa nókusasula ensimbi ezo obukadde bwa shs 90.5, n’obutaddamu kuwebwa mulimu gwonna ogwekuusa ku wofiisi ekola ku bantu bonna okumala emyaka 10.
Wabula amuwadde ebbeetu eryókujulira singa abeera tamatidde nansala ya kooti.
Omulamuzi Nabende alabudde abakulira amasomero okwewala okukemebwa nebalya sente z’abayizi eza UNEB,nti boolekedde okugwera mu makomera olw’okuttatana obulamu bw’abayizi.