Abazadde ne bannakyewa mu mukago gutakabanira amaka amalungi ogwa Family Life Network, (FLN), batongozza kawefube w’okutalaaga ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo nga basomesa abantu obukulu bwétteeka erikugira omukwano ogw’ebikukujju, n’okumanyisa abazadde obuvujjirizi bwabwe mu tteeka lino.
Bino bijjidde mu kiseera nga waliwo n’okusika omuguwa wakati wa government ya Uganda ne World bank neyimiriza okuwola Uganda ensimbi, olwókuba Uganda yayisa etteeka erirwanyisa abantu abayigiriza abalala ebikolwa ebyóbusiyazi.
Stephen Langa ssenkulu w’omukago gwa Family Life Network, abadde mu lukungaana lwa bannamawulire ku Hotel Trinangle mu Kampala naagamba nti Uganda tesaanidde kwekyusa ku tteeka lino olwókussibwako ekkoligo lyénsimbi, nti kubanga ebiseera bya Uganda ebyomumaaso bisaanidde okukuumibwa.
Mungeri yeemu, Norah Itungo, akiikirira abazadde abakyala mu mukago guno, agambye nti abazadde basanidde okukulemberamu okuzza ennono n’obuwangwa bwa Uganda, era nti mu nteekateeka eno tebagenda ku kukkiriza busiiwufu bwampisa kweyoleka mu bannansi.
Basuubizza okutuukirira ebibinja byábazadde ebyenjawulo okutema empenda ku ngeri gyebasobola okukolera awamu ngábazadde okulwanyisa obugwenyufu bwémpisa obwenjawulo.
Okuva etteeka lino lweryayisibwa Uganda ebadde mu kasattiro, nakazito okuva mu mawanga gaabazungu, okutiisatiisa okusalibwa kw’obuyambi nebirala.
Bisakiddwa: Ddungu Davis