Abaami basabiddwa okwenyigira mu kaweefube w’okulwanyisa kkokolo w’omumwa gwa Nnabaana, nga bakubiriza bakyala babwe okugenda okwekebeza, n’abaana ab’obuwala okubatwala bagemebwe.
Ministry y’ebyobulamu mu Uganda eri mu kaweefube w’okusomesa abantu ku bikwata ku kirwadde kya kkookolo n’engeri gyebasobola okumwewalamu.
Okusinziira ku Dr.Joseph Okware, mu kulwanyisa kkookolo w’omumwa gwa Nnabaana, abakyala abasukka emyaka 25 bateekeddwa okubeera nga bekebeza buli kadde nga singa kkookolo azuulwa nga bukyali asobola okuwonyezebwa.
Abaana abawala wakati w’emyaka 10 – 14 nabo balina okugemebwa kkookolo w’omumwa gwa Nnabaana, okubatangira okukwatibwa akawuka ka Human Papillomavirus akaleeta kookolo ow’ekika kino.
Ddoozi ezigema kkookolo w’omumwa gwa Nnabaana zibeera bbiri, ng’eyokubiri alina okugifuna ng’emyezi omukaaga giyiseewo okuva lweyafuna esooka.
Mu ngeri yeemu abantu bonna bakubirizibwa okujjumbira okulya ebibala n’enva endiirwa, okukola dduyiro, obutanywa mwenge gusukkiridde, okwewala okufuuweeta ssigala n’ebirala ebibateeka mu katyaba k’okukwatibwa kkookolo.#