Okulonda kw’okujjuza ekifo Kya ssentebe wa district ye Hoima kugenda mu maaso naye abantu bakyali bamusoolesoole olw’enkuba ekedde okufudemba.
Okuddamu okulonda kuno kwazeewo oluvanyuma lweyali ssentebe wa district eno Kadiri Kirungi okufiira mu kabenje k’emmotoka.
Abantu 5 bebavuganya mu kalulu kano okuli Musinguzi Patrick owa FDC, Mugisha Uthman owa Nrm ,Muhumuza Vincent Savana atalina kibiina , Aguuda Moses owa NUP saako Mugume Lennox naye atalina kibiina
Omwogezi wakakiiko kebyokulonda Paul Bukenya agambye nti akakiiko kebyokulonda kaakoze ogwaako ,ebikozesebwa mu kulonda byaatuse mu budde.#