Ekibiina kya National Unity Platform kituuzizza Ttabamiruka wakyo, okulonda olukiiko olufuzi olw’ekibiina olwa NEC.
Olukiiko lutudde ku wofiisi z’ekibiina kino ez’e Kamwokya mu Kampala.
Agavaayo galaga nti ekifo kya president wekibiina kino Robert Kyagulanyi Ssentamu nekya Ssabawandiisi w’ekibiina David Lewis Lubongoya tebalina babavuganya.
Abamu ku besimbyewo:
Nkunyungi Muwada omubaka wa Kyadondo East ,Fred Nyanzi Ssentamu ne Habib Buwembo kitegerekese nti bavuganya ku kifo kya Ssaabakunzi w’ekibiina.
Francis Zaake omubaka wa munisipaali ye Mityana ,Frank Kabuye omubaka wa Kassanda South, Shamim Nambasa eyali omukulembeze w’abayizi e Makerere bavuganya ku kifo kyomukulembeze w’abavubuka
Allan Ssewanyana omubaka wa Makindye West naakulira oludda oluvuganya government Joel Ssenyonyi bavuganya ku kifo kya mwogezi w’ekibiina.
Susan Mugabi Nakaziba omubaka omukyala owa district ye Buvuma ne Benjamin Katana kitegerekese nti bavuganya ku kifo kyomuwanika wekibiina.
John Mary Ssebuufu omu ku ba memba ba akakiiko kebyokulonda agambye nti abantu abaasunsuddwa nebakkirizibwa okuvuganya ku bifo bali 22 ebigenda okulondebwaamu abakiise, era abatuukirizza obukwakulizo.
Wabula talambuludde ba memba ba delegates conference nengeri gyebalondebwamu okwetaba mu delegates conference, so nga ne ssemateeka ekibiina kino kwekitambuliza emirimu gyaakyo akyaliko okusika omuguwa.
Abatandisi b’ekibiina ekyavaamu NUP okuli Ssimbwa Kagombe ne Mzei Kibalama Nkonge, bakalambidde nti ttabamiruka agenda okutuula olwaleero nga 11 June,2025 okulonda obukulembeze bw’ekibiina aliwo mu bumenyi bw’amateeka, era ensonga ziri mu kooti.#