Abakristu balamaze ku kyalo Nkazebuku ewazaalibwa omujulizi Noa Mawaggali, era gyeyaziikibwa.
Okulamaga kuno bye bimu ku bikujjuko by’okukuza olunaku lw’abajulizi olwa nga 03 June,olukuzibwa buli mwaka.
Noa Mawaggali yazaalibwa ku kyalo Nkazebuku ekisangibwa mu parish ye misigi, mu muluka gwe kimuli, mu gombolola ye Maanyi, mu ssaza Busujju mu district ye Mityana.
Ssentebe w’abepisikoopi mu Uganda era omusumba w’essaza erya Kiyinda – Mityana Bishop Anthony Zziwa yayimbye missa ebadde mu kitundu ekyo, mubaddemu n’okusonda ensimbi ez’okuzimba klezia mu kifo Noa Mawaggali weyaziikibwa.
Mu ngeri yeemu nga 31 May buli mwaka, era wabeerawo missa eyokulamaga ku klezia ya Kiyinda-Mityana Noa Mawaggali weyattibwa,era yemuwolereza w’ekifo.
Bishop Zziwa atenenderezza obuvumu abajulizi bwebaayolesa mu biseera byebattibwamu, nabebaza olw’okufiirira eddiini, nti kyakulabirako kinene eri abakkiriza mu mulembe oguliwo n’emirala egirijja.
Kwaya ya St.Bruno okuva mu Kiyinda yekulembeddemu okuyimba.
Minister w’ettaka Judith Nabakooba n’ababaka ba parliament abekitundu okuli Lukyamuzi Kalwanga ne Joyce Bagala betabye mu kulamaga kuno nebasonda n’ensimbi ezokuzimba ekifo ekyo.
Obukadde 12 omugatte bwebusondeddwa okuzimba ekifo kya Noa Mawaggali ku kyalo Nkazebuku Maanyi Busujju gyeyazaalibwa era gyeyaziikibwa.
Noa Mawaggali ateeberezebwa okuba nti yazaalibwa mu 1850, muzzukulu wa Nsamba ava mu kika kye Ngabi.
Kitaawe yayitibwanga Musaazi ate nnyina ye yali Meeme.
Bisakiddwa: Alice Naggirinya