Akulira amakomera mu ggwanga Dr.Johnson Byabashaija ayisizza ebiragiro 14 eri amakomera gonna mu ggwanga, okubeera ku bwerinde obwawaggulu, kwewala emitawaana egiyinza okugwaawo mu kiseera ky’ennaku enkulu.
Ebiragiro biyisiddwa eri abakulembeze ku mitendera egyenjawulo, omuli okulondoola amakomera n’Obwegendereza nga bayambibwako ebitongole by’Okwerinda ebikwatibwaako omuli police n’amagye.
Dr Byabashaija ayimirizza enkola y’Okutwala abasibe okukola emirimu egyenjawulo wabweru w’amakomera, omuli okupangisibwa okulima, songa n’Okukyalira abasibe akuyimirizza okutuusa omwaka ogujja 2024.
Obubaga bw’abakozi mu makomera obukomekkereza omwaka n’abakozi okugenda mu luwummula biwereddwa,okutwala abasibe mu malwaliro agali wabweru w’amakomera , n’abantu abatali baserikale bakitongole ky’amakomera okusalimbira mu nkambi kuwereddwa.
Abaserikale mu kitongole ky’amakomera balagiddwa okuwaayo alipoota ezabuli lunaku ezooleka embeera bweri nga bayita mu baduumizi b’amakomera okwetoloola eggwanga, awasangibwa obunafu mu mpeereza wakolebweko mangu.
Dr Byabashaija mungeri yeemu alagidde abaserikale n’abasibe mu makomera gonna baweebwe ettu lyabwe erya Ssekukkulu mu budde, omuli n’ennyama , omuceere ne kalonda omulala gwebalina okuweebwa mu biseera by’amazaalibwa g’omwana wa Katonda.
Bisakiddwa: Kato Denis