Enzikiriza y’abassa ekimu mu yesu kristo,bakuzizza olunaku olutukuvu olw’okutaano, nga batambuza ekkubo ly’omusaalaba.
Enzikiriza okuli ey’abakulisitaayo, abakatuliki n’aba Orthodox, abegattira mu kibiina ki Uganda Joint Christian Council, bebakunganide ku kisaawe kya Old Kampala SS, mwebaweredde obubaka obwenjawulo, oluvanyuma lw’okutambuza ekkubo ly’omusaalaba.
Luno lwerunaku omulokozi Yesu kristo lweyattirwako, era ku lunaku luno lweyalangirirako ebimu ku bintu ebyali bigenda okumutuukako ebyomumaaso.
Ku lunaku luno, yesu yalangirira nti yali wakuttibwa mu kiseera ekitali kyawala.
Yesu era kweyalangirira nti yali wakuzuukira mu bbanga lya nnaku 3.
Mu mawanga agenjawulo olunaku luno luweebwa amannya agenjawulo, abamu baluyita Great Friday,good friday, Holly Friday, Black Friday abandi baluyita Holy olw’obukulu bwalwo.
Olunaku luno lwerukomekerezza ennaku 40 ez’ekisiibo ky’abagoberezi ba kristo nga beetegekera paasika.
Obubaka obw’okubuulira emirembe, okulwanyisa, enguzi, ekitulugunya bantu, ettemu, obubbi nebisale byebyamaguzi ebyekanamye, bwebusinze okwefuga okubuulira kwabakulembeze benkiriza ezisuusuuta Krsito mu kutambuza ekkubo ly’omusalaaba okubaddeyo olwaleero.
Ssabasaumba wessaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssimwogerere, yeyakulembeddemu abakatuliko okuva ku ekerezeya ya St Mary’s e Lubaga okwolekera Old Kampala, Metropolitan Jeronymus Muzeeyi, ssabasumba weekeresiya y’aba Orthodox, yakulembeddemu abaavudde e Namungoona era nga bano bebabadde abategesi bemikolo gy’omwaka guno.
Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The Most Rev. Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu, yakulembeddemu abakkiriza okuva mu kkanisa ya Uganda abaavudde mu bulabirizi bwa Kampala ku All Saints e Nakasero.
Omulabirizi we Namirembe kitaffe mu katonda, Rt Rev. Wilberforce Kityo Luwalira, nakulemberamu abakulisitaayo mu bulabirizi bwe Namirembe.
Bwabadde abuulira Metropolitan Jeronymus Muzeeyi, ssabasumba waba Orthodox, agambye nti Uganda yeetaga kusabira nnyo okubukalamu emirembe.
Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Bishop Paul Ssemogerere, ssimusanyufu nti olunaku lw’okutambuza ekkubo ly’omusalaaba omwaka guno, lutuukidde mu kiseera ng’ebintu bingi ebikyasoomoza eggwanga omuli nabantu bannaffe okutunda ebitundu byabalala eby’omubiri, enguzi nobulabbayi bikyali bingi.
Ssabasumba Paul Ssimwogerere mu ngeri yeemu mwenyamivu nti ne kooti za Uganda ensangi zino zirimu abantu abatagondera bulungi mateeka, ng’abalamuzi basala emisango mu nkola ng’eya pontiyo piraato, eyasalira yeesu ogwokufa ssonga teyalina musango.
Ye Ssabalabirizi wekkanisa ya Uganda, The Most Rev. Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu, mwemyamivu olwebikolwa eby’Obutujju, obunyolagano mu ggwanga, etamiiro, obuseegu, okutulugunya abantu n’ebikolwa ebyokutabanguko n’okumalako abalala emirembe ebizeemu nate mu ggwanga.
Ssabalabirizi Kazimba mungeri yeemu mwemyamivu olwobutali bwenkanya obweyongera mu nsi, entalo ezizeemu okuwulirikika mu mawanga agatali gamu neziviirako abantu okufuuka emmomboze, ssonga nabantu abalala bangi abayita mu kunyigirizibwa.
Omulabirizi wa West Buganda Katumba Tamale,agambye nti ku lunaku luno yesu Kristo yagendereramu okufiiririra ebibi by’abantu, era okuswala kweyayitamu kwagendereramu okuggyawo emize egyali gimaamidde ensi.
Omulabirizi Katumba agamba nti bbo mu bendobendo lye Buddu olunaku bakulukuliza wamu n’abakatuliki abakulemberwa omusumba wessaza ekkulu e Masaka, Sliverus JJumba, okwongera okwegayirira Katonda okutaasa Uganda yattu nensi yonna mu bikolwa ebikyamu ebyeyongera,omuli ettemu,entalo n’ebirala.