Olwaleero ennaku z’omwezi ziri 09 June,2025, Uganda lwejjukira olunaku lw’abaazirwanako olwatuumwa olw’abazira, naddala abo abaakola ennyo okuleeta government eriko eya NRM mu buyinza ( 1981-1986).
Emikolo egy’omulundi ogwa 36 emitongole giri mu district ye Lyantonde ku ttendekero lya Lyantonde Technical Institute mu town council ye Kaliiro.
Abantu 50 bebasuubirwa okuweebwa emiddaali, nga 7 ku bano bamu district ye Lyantonde.
Minister w’ensonga zobwa President Milly Babirye Babalanda mukwogerako ne cbs atubulire nti olunaku luno lwa byafaayo, naddala mu NRM.
Minister agambye nti abantu abakoze ebirungi basaana okujjukirwa olw’okwewaayo kwabwe.
Abamu kubagenda okuweebwa emiddaali mulimu aba police, abajjaasi, n’abantu babulijjo abalina byebakoze eby’enkizo.
Bagenda kuweebwa emiddaali okuli ogwa National Independence Medal, Nalubaale Medal, Masaba Star Medal, Personal Sacrifice Medal,Luweero Triangle Medal Kabaleega Medal n’emirala.#