Okukuza okunaku lw’abasomesa mu nsi yonna, nga05 October,2023 mu Uganda lutambulira ku mulamwa ogw’okusitula omutindo gw’abasomesa okutuukana n’omutindo gw’ebyenjigiriza eby’omutindo.
Emikolo emikulu gitegekeddwa ku kisaawe ky’amefuga e Kololo mu Kampala.
Ssaabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa ekya Uganda National Teachers Union Filbert Baguma, agamba nti byonna government byeteekateeka okukola okusitula ebyenjigiriza, omusomesa alina okuba ku mwanjo awatali kubasosolamu.
Baguma agamba nti embeera y’ebyenfuna mu ggwanga eviiriddeko abasomesa bangi okwabulira omulimu guno nebeyunira emirimu emirala, so nga babeera bafunye obumanyirivu mu byenjiriza.
Agamba nti governmebt esaanye eteeke mu nkola byonna byezze ebasuubiza okusitula embeera z’abasomesa, omuli n’okwongeza emisaala gy’abasomesa ba Arts nga bweyakola aba sciences.
Mu District ye Mityana abasomesa nga bakulembeddwa Milly Naluutu omusomesa ku ssomero lya Mpumudde UMEA primary School agamba nti abasomesa bangi batandise okutwalibwako ebyabwe byebaasinga olwa mabanja agasusse, ekyongera okunafuya abasomesa olw’ebirowoozo ebisukkiridde.
Naluutu agamba nti olunaku lwabwe terukyalina mulamwa gugasa basomesa ng’abantu.
Wabula Minister omubeezi owe byengiriza avunanyizibwa ku matendekero agawaggulu Owek Dr JC Muyingo ategezezza nti government tegenda kuweera okutuusa ng’omulimu góbusomesa gutereezedwa nókugwagazisa abalala.