Government erangiridde nti Uganda yakujjaguza olunaku lw’abakadde munsi yonna nga 1 October,2024 ebikujjuko byakubeera mu Kibuga Masaka ku Liberation Square.
Olunaku lwakutambulira ku mulamwa ogw’okukuuma n’okulwanirira eddembe ly’abakadde kubanga bulyomu wakukaddiwa.
Bwabadde alangirira ebikujjuko bino Minister wa bakadde Gidudu Mafwaabi Dominic asinzidde mu Parliament nategeeza nti government efubye okuyambako abakadde okwetoloola eggwanga nga ebateerawo entekateeka ez’enjawulo okwebezaawo omuli n’okubawangayo akasente buli mwezi emitwalo 25000.
Wabula Minister Gidudu Mafwaabi ategezezza nti abakadde ba Uganda bakyalina okusoomozebwa ku bintu ebyenjawulo omuli okusuulibwawo abenganda , okusosolebwa mu byenfuna n’ebirala era bakukozesa olunaku luno okwogera ku bibaluma.
Akumu Catherine Mavenjina omu kubakiikirira abakadde mu Parliament ategezezza nti wadde government yasalawo okuwa banamukadde akasente, naye mu bitundu bye Nebbi waliwo abagezi ebezza ensimbi ezo abakadde nebaviiraamu awo.
Omubaka wa Kimanya Kabonera Abed Bwaniika eyagala emyaka abakadde kwebatandikira okuweebwa ensimbi zabakadde gikendeezebwe batandikire ku 60 mu kifo kye 80 kwebatandikira kati,kubanga abakadde bangi balekeddwa ebbali.
Mutumba Abdou omubaka wa Kiboga West abulidde Parliament nti government ensimbi 25,000 zeewa abakadde zikyaali ntono, ae nga balwawo n’okuzifuna nga mu kitundu kyakikirira abakadde bamaze emyeezi mukaaga nga tebafuna Nsimbi ezo.
Okusinziira ku bibalo, Uganda erina omuwendo gw’abakadde obukadde 2 n’emitwalo 30, ate nga munsi yonna abakadde Bali obukadde 761
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius