Leero ennaku z’omwezi ziri 17 November, lunaku lwakwefumiitiriza ku mbeera y’abaana abazaalibwa nga tebanatuuka.
Okusinziira ku kitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku nsonga z’abaana ekya UNICEF abaana abasinga okufa nga tebanaweza myaka 5 egy’obukulu babeera baazaalibwa tebanatuuka, ate nebatafuna kulabirirwa kumala.
Omulamwa gw’omwaka guno 2023 ogw’okwefuumitiriza ku lunaku luno, gwegw’okuyambako n’okubudabuda ba Nakawere, okubasobozesa okuwambaatira abaana ku mibiri gyabwe mu nkola emanyiddwa nga Kangaroo care.
Enkola eno eyamba abaana okufuna akabugu okuyita mu nsusu za ba nnyabwe, akabayamba okwongera okukula obulungi, emitima gyabwe okukola obulungi ne mukussa nga tebakaluubirizibwa.
Ekitongole kya America eky’ebyenkulakulana kye kimu ku biyambyeko okwongera okusomesa ab’eby’obulamu ku nkola eno, abawera 900 babanguddwa mu district za Uganda 96.#