Ministry y’ekikula ky’abantu n’ekitongole ekitaba abazadde abalina abaana abaliko obulemu ku nkizi n’okuzimba emitwe ekya Spina Bifida and Hydrocephalus Association, (SHAU), bawadde munnamawulire wa CBS Ey’obujjajja Davis Joel Ddungu engule, ey’okumusiima obuweereza mu kulwanirira eddembe lyabaliko obulemu mu ggwanga.
Munnamawulire Davis Joel Ddungu y’asaka amawulire ag’eby’obulamu nag’ebyenjigiriza ku CBS Ey’obujjajja 88.8, anokoddwayo ku bannamawulire abafuddeyo okulwanirira eddembe ly’abaliko obulemu n’ensonga zaabwe okuzaagazisa n’okuzimanyisa abalala okuzitegeera.
Ddungu Davis Joel y’omu ku bantu ssekinoomu n’ebitongole ebirala ebisiimiddwa government omubadde n’amalwaliro agalongoosa abaana abaliko obulemu buno, okuli eddwaliro lya Cure ne Kosu Hospital ku luguudo lwe Entebbe, abasawo e Mulago, nebannakyewa abalala.
Omukolo gubadde ku Imperial Royale Hotel mu Kampala, ministry y’ebyobulamu, ey’ekikula ky’abantu ne bannakyewa bano, kwebajagulizza ebikujjuko by’okwefumintiriza ku lunaku lwabaliko obulemu obwekikula kino eky’enkizi etatonze bulungu n’okuzimba emitwe olw’ensi yonna olumanyiddwa nga World International Day of Spina Bifida and Hydrocephalus.
Akulira eby’obujanjabi ebisookerwako mu ministry ye by’obulamu, Dr. Charles Olaro, agambye nti ba maama abali embuto basaanye okugende mu malwaliro okufuna obujanjabi nga bukyali n’okwekebejjebwa, okwewala okuzaala abaana abalina ekizibu kino.
Agambye nti kisinga kujja mu nnaku 28 ezisooka ng’omukyala yakafuna olubuto.
Obutamanya, ebikozesebwa ebyobuseere olw’emisolo, amalwaliro amatono n’abasawo abakugu mu kujjanjaba embeera eno okuba abatono mu ggwanga, byebimu ku binokoddwayo ebikyasoomoza Uganda mu kumalawo embeera eno.
Minister Omubeezi avunanyizibwa ku baliko Obulemu mu ministry y’ekikula ky’abantu, Hellen Grace Asamo, asinzidde ku bikujjuko bino naategezezza nti government neetegefu okwongera okuzimba amalwarilo agawa obujanjabi n’okusomesa banna Uganda ku bulemu buno nokulabirira abawangaala nabwo.
Ruth Nalujja akulira ekibiina ekitaba abazadde abalina abaana abawangala n’ekizibu kya Spina Bifida and Hydrocephalous Association of Uganda (SHA-U), ategezeza nti bakyasanga okusoomozebwa olw’ebbula ly’ensimbi, okufuna ebikozesebwa mu kuyambako abaana abo, naabazadde bangi tebafunye kusomesebwa kumala ku mbeera eno.
Ebiwandiiko biraga nti abaana 6,000 bebazaalibwa n’ekizibu kino buli mwaka, kyokka nti abaana 1,000 bokka bebasobola okufuna obujanjabi ekiviiriddeko naabamu okufiirwa obulamu.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius