Ng’Obuganda buli mu kaweefube olwokukuuma obutendebwensi, enteekateeka y’okusimba emiti ginansangwa awamu n’okugirabirira mu bibiira bya Kabaka okwetoolola Obuganda eyongeddwamu amaanyi, ng’emu ku ntegeka y’okukuza olunaku lwa Bulungi bwansi olw’omwala guno 2025.
OLunaku lwa bulungi bwansi ne government ez’ebitundu lukuzibwa buli nga 08 October, mu Bwakabaka bwa Buganda.
Emikolo emikulu giri mu ssaza Kyaddondo ku mbuga ye Ggombolola ya Busaale Busukuma.
Olunaku luno lwassibwawo okujjukira ekiseera government ya Bungereza lweyaddiza Buganda ameefuga gaayo, nga 08 October,1962, era kati giweze emyaka 63.
Omukwanagannya w’Obutondebwensi mu Bwakabaka Teddy Nabakooza Ggaliwango asinzidde ku kibira kya Kabaka ekikumiibwa Oweek. Martin Kasekende e Kalambi, Buloba mu Busiro n agamba nti Obwakabaka butandiise okutalaaga ebitundu eby’enjawulo nga bulina ekirubirira ky’okulabirira emiti ginansangwa egyomugaso, okwongera okuzza obutonde bwa Buganda.
Ggaliwango yabaziza Owek Martin Kasekende olw’okukuuma ekibira kino ebbanga erisoba mu myaka 40 nga tewali muti gutemeddwamu.
Oeek Martin Kasekende mwennyamivu olw’abantu abefunyiridde okusannyawo obutondebwensi nga batema, besenza ku ttaka okutudde ebibira ekyobulabe ennyo ku mbeera y’abantu kubanga emiti gyegivaamu omukka abantu gwebassa.
Ebika by’emiti egy’enjawulo egisangibwa mu kibira kino kuliko emisambya, ssettaala, oluzibaziba, emiteganvubu, emiwafu, kirundu, enkoba, enkuzzanume, enkuzzanyana n’emirala.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius












