Leero ennaku z’omwezi ziri 13 June, 2023
Uganda yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’okwefumiitiriza ku kukusoomozebwa bannamagoye kwebayitamu.
Olunaku luno lwatandikibwawo ekibiina ky’amawanga amagatte n’ekigendererwa ekyokwefumiitiriza era n’okutema empenda ez’okumalawo ebisomooza bannamagoye.
Omu ku babaka abakiikirira abaliko obulemu Mpindi Bumaali agamba nti wakyaliwo okusomoozebwa eri bannamagoye naddala ku bikozesebwa mu bulamu bwabwe obwa bulijjo.
Okusingira ddala anokoddeyo ebizigo byebakozesa obutakosebwa musana, okuboolebwa ku mirimu, obutafuna mukisa kusoma ng’abaana abalala n’ebirala.
Okusinziira ku bibalo ebiriwo wano mu Uganda, ekitundu kya Busoga kyekisinga okuba ne bannamagoye abangi.
Ekisinga okwennyamiza okuwangaala kw’abantu bano kutono ddala, olwa kkokolo w’ensusu abatawanya ennyo.
Okunoonyereza kulaga nti bannamagoye abasinga obungi bafa nga tebanaweza myaka 40 egy’obukulu, olw’obutaba na bikozesebwa okubatangira kookolo w’ensusu.
Mpindi Bumaali agamba nti bbo ng’ababaka abakiikirira abaliko obulemu balina byebasobodde okukola okulaba ng’abantu bano basobola okuwangaala wadde nga wakyaliwo bingi ebitanakolebwa.
Akulira ekibiina ekigatta banamagoye mu gwanga Ogik Peter asabye government nti ebizigo ebizigo ebikozesebwa bannamagoye obutakosebwa musana, bigattibwe ku nkalala z’eddagala eriweerezebwa mu malwaliro ga government.
BIsakiddwa: Wasajja Mahad