President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yelayiridde okwambalagaan n’abantu abagala okutabangula emirembe mu Uganda nga basekeeterera n’okwogerera government gy’akulembera amafukuule.
President asoose kulambula nnyiriri z’abaserikale okuli ab’amagye,police n’abekitongole ky’amakomera.
Emikolo gibadde mu kisaawe kya St John SS Wakitaka mu kibuga Jinja.
Museveni agambye nti government ya NRM erafuubana okuleetawo enkulaakulana mu Uganda omuli okugoba obwavu , okukola enguudo , okunyweeza ebyokwerinda n’okukuuma emirembe wabula nti bino byonna waliwo ababiziimuula.
President Museveni abyogeredde Jinja bw’abadde ku mikolo egy’okujaguza emyaka 38 bukyanga olutalo lw’ekiyeekera olwaleeta government ya NRM lukomekkerezebwa nga 26 January mu 1986, netaandika okufuga.
Ku mukolo guno waleteddwa omuzubuka Ssimbwa Moses ategeezezza nti yakozesebwa ab’oludda oluvuganya government mu bikolwa ebikyaamu, omuli n’okuwamba abantu nga bakozesa emmotoka ezakazibwako erya Drone.
Ssimbwa agambye ab’oludda oluvuganya baamutwalako ne Kenya nga bamusuubizza nti bamutwala mu ddwaliro, okutuuka eyo baamulagira kuwa bujulizi mu lukungaana olumu, nti awaayirize government ya NRM bweyamutulugunya.
Bwatyo Museveni yeweze nti siwakukiriza muntu yenna kutabangula mirembe gyeyalwanirira.
President Museveni agumizza abantu ba Busoga nebitundu byeggwanga ebyenjawulo nti government ye yakwongera okukola enguudo, enguudo z’eggaali y’omukka , okuyambako abavubuka okwetandikirawo emirimu okugoba obwavu.
Agambye nti mu myaka 38 government ye ebyobulamu ebitaddeko nnyo essira omuli okugema abaana endwadde, wabula nalabula ababba eddagala mu malwariro okukikomya.
Mzee Yoweri Museveni azeemu okulabula obukiiko obufuzi obwa masomero ga bonna basome n’abagakulembera obutakemebwa kuggya nsimbi ku bazadde nti kubanga government ye yasalawo okusasulira abayizi okusoma kubwereere mu primary (UPE).
Minister we nsonga zobwa President Milly Babirye Babalanda yetondedde President Yoweri Museveni olwa Basoga abataamulonda mu kalulu Vvaawo mpitewo aka 2021, era ono yeyamye nti Busoga yakumuwagira mu kalulu ka 2026
Ku mukolo guno abaliko kyebaakola okuleeta government ya NRM basiimiddwa era nebaweebwa emidaali gibadde 52.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius