Emikolo gy’okukuza amefuga ga Uganda ag’omulundi ogwe 61 mu mwaka 2023 giyindidde ku ttendekero lya Kitgum District Farm Institute mu division ye Pandwong mu district ye Kitgum.
Gitambulidde ku mulamwa ogugamba nti “Okukuuma obumu obwa Uganda, Enkulaakulana ku lw’ebiseera eby’emirembe gyomumaaso”.
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museven atuukidde mu kulambula nnyiriri gy’abasirikale, era nga yasoose ku ggulawo katale ka district ye Kitgum akapya akazimbiddwa okuyambako abasuubuzi abasoba 1000 mu bitundu bino, okukolera mu kifo ekiteeketeeke.
President era atongozza emmotoka y’amasanyalaze etuumiddwa “Bingwa”, ekoleddwa aba kampuni ya Kiira ngeeno esobola okukola emirimu egyenjawulo naddala mu masoso g’omubyalo.
Emikolo gino gitandise n’okusaba okukulembedswamu Ssabasumba w’essaza ekkulu erye Gulu, Bishop John Baptist Odama, asabidde emirembe okwongera okubukale mu Uganda nabakulembeze abenjawulo okukola ebyekisa eri Eggwanga Uganda.
Okusaba okwabaddu ba Allah, kukulembeddwamu, Sheik Musa Karifan, omumyuka wa Mufti mu bendobendo ly’obukiika kkono bwa Uganda, era ono awanjagidde omutonzi okutaasa amawanga agaliranye Uganda, n’okumalawo entalo mu mawanga gabasiraamu.
Enkumi n’enkumi z’abantu okuli ababaka ba parliament, ba minister mu government ya Uganda, n’abakiikiridde amawanga agenjawulo.
Obutafaananako ng’emyaka 3 egiyise, tewabadde kukebeza bantu kirwadde kya Covid 19 okuggyako abo ababeera ku lusegere lwa president.
Minister avunanyizbwa ku nsonga z’obwa president, Milly Babalanda aloopedde president nti waliwo banna byabufuzi abakyalemesezza enteekateeka za government okutinta mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, n’abalala okuzoogerera obubi mu bantu nti bye bimu ebikonzibizza enkulakulana.
President Yoweri Kaguta Museven mu kwogera kwe akakkaatirizza obwetaavu bw’amawanga ga Africa okuzimba enkolagana ey’omuggundu mu by’obusuubuzi, gasobole okukulaakulana.
Museven agambye nti singa bannamakokero bassaawo amakolero era n’ebakola n’ebyamaguzi bingi, nti naye singa tewabaawo katale kegasa ak’abantu abakozesa ebintu ebyo, amawanga ga Africa gakusigala ng’enkulaakulana eyegombesa gagikonga lusu.
Omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze okuva mu mawanga ga East Africa.
Bakulembeddwamu Prosper Bazombanza omumyuka wa president wa Burundi nga yaakikiridde president we era ssentebe w’omukago gwa East Africa.
Mu ngeri yeemu minister avunaanyizibwa ku nsonga z’amawanga amalala owa United Arab Emirates, H.H Sheik Abdullah Bin Zayed Al Nahyari ne minister w’ensonga zebweru okuva mu ggwanga lya Western Sahara, Mohamed Salem Ould Salek, nga nabo beetabye ku mikolo gino, era baweze okwongera okukolagana obulungi ne Uganda, okulaba nti wabaawo okutumbulagana mu byenfuna.
Omukulembeze wa Tanzania, H.E Samia Suluhu Hassan, mu bubaka bwatisse, omumyuka wa ssabaminister w’eggwanga eryo, Doto Biteko, agambye nti enkolagana ya Uganda ne Tanzania bagisuubiramu ebibala bingi, nokulaba nti bakwatagana okutumbula omukago gwa East Africa.
Uganda yafuna obwetwaze okuva ku Bungereza nga 09 October,1962.