• Latest
  • Trending
  • All
Ebintu byaffe eby’obuwangwa tebirina kuyitibwa bya sitaani – bishop Silvester Kisitu mu kukuza amazaalibwa ga Kabaka age 71 ku eklesia e Namungoona

Okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’e 71 – gakulembeddwamu eklesia ya Orthodox e Namungoona

April 13, 2026
Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we

Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we

May 15, 2026
Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala

Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala

May 15, 2026
Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo

Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo

May 15, 2026
Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

May 14, 2026
Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

May 14, 2026
Okuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Kalangala – NUP emalirizza okukwata empapula z’abegwanyiza kaadi y’ekibiina

Okuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Kalangala – NUP emalirizza okukwata empapula z’abegwanyiza kaadi y’ekibiina

May 14, 2026
Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe alondeddwa okufuuka Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga

Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe alondeddwa okufuuka Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga

May 14, 2026
Katikkiro Mayiga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesiga namukwasa Ddamula – ajaguzza emyaka 13

Katikkiro Mayiga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesiga namukwasa Ddamula – ajaguzza emyaka 13

May 13, 2026
Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 batandise okukuba ebirayiro – bali 529

Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 batandise okukuba ebirayiro – bali 529

May 13, 2026
Mawokota ereese Richard Malinga ng’omutendesi omuggya – enoonya kikopo kyakuna mu mpaka z’amasaza 2026

Mawokota ereese Richard Malinga ng’omutendesi omuggya – enoonya kikopo kyakuna mu mpaka z’amasaza 2026

May 13, 2026
President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

May 12, 2026
Yogaayoga Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaka 13 ng’okuuma Ddamula

Yogaayoga Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaka 13 ng’okuuma Ddamula

May 12, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’e 71 – gakulembeddwamu eklesia ya Orthodox e Namungoona

by Namubiru Juliet
April 13, 2026
in BUGANDA
0 0
0
Ebintu byaffe eby’obuwangwa tebirina kuyitibwa bya sitaani – bishop Silvester Kisitu mu kukuza amazaalibwa ga Kabaka age 71 ku eklesia e Namungoona
0
SHARES
34
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Libadde ssanyu jjereere ku eklesia ya Nicholas e Namungoona, Obuganda gyebukuηaanidde okujaguza n’okwebaza Katonda, olw’amazaalibwa ga  Ssaabasajja Kabaka Magulunnyondo Ronald Muwenda Mutebi II age 71.
Okusaba kukulembeddwamu Ssabasumba Jeronymos Muzeeyi, ate okubuulira kukulembeddwamu Bishop Silvester Kisitu, ng’omugenyi omukulu abadde Nnaabagereka Sylivia Nagginda.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Ssaabasajja Kabaka okunyweza Obumu n’Okwewala enjawukana, libeere ekkubo lya Buganda Okudda ku Ntikko.
Katikkiro akinogaanyizza nti enkulaakulana ya Buganda eri ku musingi ogw’Obumu, obutandikira ddala mu Bika, nga n’olwekyo abantu ba Buganda tebalina kuganya muntu yenna abaawulamu.
Katikkiro ku lw’Obwakabaka ayozaayozezza Ssaabasajja okutuuka ku kkula ly’Amazaalibwa g’Emyaka 71, naamwebaza olwokuluηamya Obulungi Obuganda.
Katikkiro era yebazizza Obuganda bwonna olw’okwetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka.
”Neebaza Obuganda bwonna kubanga bwe tubukowoola butwanukula” – Katikkiro Mayiga
Abalangira n’abambejja bazze mu bungi, okwebaza Katonda olw’obulamu bwa Ssaabasajja Kabaka
Ssabasumba wa Eklesia Orthodox,  Yinonimus Mzee aloopedde Ssaabasajja Kabaka ng’enzikiriza yabwe bwesosolwa, olwemigabo emitono gyebalina mu buweereza obwenjawulo mu government eyawakati.

Omulabirizi Silvester Kisitu atwala ekitundu kye Jinja nga yabuulidde , yebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’Obuwagizi eri Eklesia, okutumbula enkulaakulana mu Bantu be n’Obulamu Obulungi, era asabye abantu ba Kabaka obutabala myaka gya Ssemunywa gyokka, wabula okulaba ebikoleddwa era ebituukiddwako eby’ensonga.

Agambye nti emyaka gya Kabaka tetubala mibale, wabula ebyo eby’obugagga eby’ensibo Katonda byamusobozesezza okukolera abantu be, omuli Okwagala, emirembe n’obumu abituwa esuubi ng’abantube.
Minister omubeezi owebyenjigiriza ebya waggulu Owek JC Muyingo nga yakiikiridde president Museveni, aleese ettu lya Bukadde bwa shs 20 ,nateegeeza nti  kirabo Kya president Museveni eri Ssaabasajja Kabaka.
Omukolo guno amakula gwetabiddwako bannaddiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo omuli Ssaabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Dr.Stephen Kazimba Mugalu, ssentebe w’abepisikoopi Anthony Zziwa, Ssaabasumba wa Kampala Paul Ssimogerere,Supreme Mufti Muhammad Ggalabuzi n’abalala.
Ba Katikkiro abaawummula, Abalangira n’Abambejja, ba Nnaalinnya, bajjajjanabataka abakulu boobusolya, ba minister ba Kabaka, ababaka mu parliament, ba ssenkulu b’Ebitongole by’Obwakabaka nabalala bangi.#
Abaana b’amasomero babaddewo mu bungi  era nga basanyusizza n’abantu ba Ssaabasajja Kabaka.
Nnaabagereka Sylivia Nagginda asimbye omuti ogw’ekijjukizo ku eklesia ya St. Nicholas e Namuηηoona, n’asala ne keeki y’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda  Mutebi II age 71.
ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we
  • Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala
  • Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo
  • Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco
  • Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist