Olukiiko olugenda okuteekateeka amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’emyaka 70 lutongozeddwa.
Amazaalibwa ga NNyinimu Omuteregga Sseggwanga gakuzibwa buli nga 13 April.
Olukiiko olutegeka amazaalibwa ga Kabaka lukulembeddwamu Omumyuka owookubiri owa Katikkiro Owek Robert Wagwa Nsibirwa, Omumyuka ye Owek Cotilda Nakate Kikomeko,Omuwandiisi ye Omuk Josephine Nantege Ssemanda, n’Owek Richard Kabanda.
Ba memba abalala ku lukiiko luno kuliko avunaanyizibwa ku ntekateeka zÁbagenyi Omuk David Ntege, avunaanyizibwa ku byÓkwerinda Capt Christopher Lutwama nÁbalala.
Bwabadde atongoza Olukiiko luno mu Bulange e Mengo, Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nti Amazaalibwa ga Kabaka galiko ebyafaayo ebitalojjeka, nti kubanga kwekwali okudda kwa Buganda ku Map yÉnsi yonna.
Katikkiro ategeezezza nti mu kujaguza Amazaalibwa gÉmpologoma , Enteekateeka zÉmisinde gyÁmazaalibwa nazo zikolwaako.
Ssentebe wÓlukiiko oluteesiteesi lwÁmazaalibwa Owek Robert Wagwa Nsibirwa, yeeyamye nti wakutuukiriza Obuvunaanyizibwa bwonna nÓlukiiko lwe, kyokka naasaba abantu ba Kabaka okumuwagira mu bubunaanyizibwa Obumuweereddwa.
Bisakiddwa: Kato Denis