Obubaka bw’okukuza olunaku lw’okunyeenya amatabi mu Uganda butambulidde ku mulamwa ogw’okukubiriza abantu buli omu okukola kyasobola okutaasa n’okukuuma obutonde bw’ensi.
Okujjukira olunaku olw’okunyeenya amatabi mu nsi yonna, ye sunday eddirira olw’amazuukira ga Yezu kristu.
Okunyeenya matabi kabonero era kikolwa kya buwanguzi, abagoberezi ba Yezu Kristu kyeboolesa nga bajjukira kristu lweyayingira ekibuga Yerusalem mu mizira nga yebagazze endogoyi wakati mu kusaakaanya, nga bamunyeenyeza ebikoola by’emiti n’okumwalirira engoye atambulireko.
Omusumba w’essaza lya Klezia erye Masaka Seruverus Jjumba abadde ku lutikko e Kitovu, agambye nti Obutonde bw’ensi butandikira kuffe abantu, nti kubanga ffe kitonde ekikulu mu bitonde bya Katonda, okuviira ddala kukukuuma obuyonjo.
Fr. Stephen Mayanja owa Lutikko ye Lubaga agambye nti Obutonde bwensi bwongedde okwesulubabba abantu, nti kubanga n’abantu tebakyabulabawo.
Agamba nti omusana n’ekibugu ekikubye Uganda ensangi zino awatali kusosola muntu yenna, abakulembeze n’abatali, abalina ensimbi n’abatalina, kyandibawadde eky’okuyiga nti buli muntu kimukakatako okukuuma.obutonde. #