Omukama wa Tooro Oyo Nnyimba Kabamba Iguru Rukidi IV asabye government eya wakati ekole ekisoboka kyonna, edduukirire abantu abakosebwa Amazzi mu district ye Ntoroko, abatalina webasula mu kaseera kano.
Omukama abadde ayogerako eri Abantube mu kujjukira emikolo gy’Empango egy’omulundi ogwa 29 egibadde mu Kikaali ky’Obukama e Karuziika mu Kibuga Fort portal.
Omukama ategeezezza nti abantube mu bitundu ebyo ebye Ntoroko tebali bulungi naakamu, nga government yeerina okubajuna.
Omukama alabudde Abatooro ku kibba ttaka ekyongedde okusimba amakanda nga kikulembeddwaamu bannabyabufuzi, naawa Abantube amagezi bettanire ekitongole kye eky’ebyettaka.
Omukama Oyo mu ngeri yeemu ategeezezza nti ng’ayita mu kuwa Abavubuka obukugu mu by’Emikono, waakulwanyisa ebbula ly’emirimu eriwaliriza abavubuka okwetaba mu bikolwa ebisasaanya Mukenenya.
Omuhikirwa wa Tooro Steven Kiyinji Amooti atenderezza Obwakabaka bwa Buganda olw’Enkolagana ennungi ne Tooro, bannamikago omuli UPDF, Uganda Tourism Board ,National Drug Authority n’abalala, abayambyeko mu kuvujjirira ensiisira z’Ebyobulamu,Okutumbula eby’Obulambuzi n’Enkozesa y’Eddagala esaanidde.
Obwakabaka bwa Buganda ku mukolo guno Ogw’empango eya 29, bukiikiriddwa Omulangira we Kooki Patrick Luwagga Mugumbule era nga ye Mukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda,minister w’ekikula ky’abantu Owek Mariam Mayanja,omubaka wa Kabaka mu Rwenzori, Owek Samuel Ssempeebwa Mukiibi n’Olukiiko lwe.
Owek.Mugumbule asabye abantu mu Bwakabaka n’Obukama okwongera okukuuma obumu, n’Okujjumbira okumanya obulungi ensonga z’Ettaka.
Gessa Simplicious Akulira ebyempuliziganya mu Uganda Tourism Board,agambye nti bakwongera okukwasizaako Obwakabaka n’Obukulembeze obw’Ennono mu Uganda yonna, okulaba nga eby’Obulambuzi ebyaawano bitumbulwa, bikendeeze ku nsimbi eziggweera mu by’Obulambuzi ebiri ebweru w’Eggwanga .
Omukolo gw’Empango gwatandise n’Okusaba okwaabadde ku Lutikko ya St John’s Cathedral Kabalore, nga wano Omulabirizi we Rwenzori Right Rev Reuben Kisembo weyasinzidde naasaba gavumenti okuteerawo ebibuga enteekateeka ennungamu ey’Okulwanyisa Kasasiro ajjudde mu bibuga.
Agambye nti esaanye esseewo ebyuma ebimukolamu ebyamaguzi ebirala, omuli Ebijimusa,Amasannyalaze n’ebirala nkumu.
Bisakiddwa: Kato Denis