Bya Ddungu Davis
Obuwumbi bwa shilling 40 bwebuteereddwawo mu nteekateeka y’okutandika okugema abantu omusujja oguleetebwa ensiri ogwa Malaria.
Okugema kuno kusuubirwa okutandika omwaka ogujja ogwa 2023.
Enteekateeka eno eyanjuddwa mu bubaka bwa Ssaabaminister wa Uganda Rt. Hon Robina Musaafiiri Nabbanja mu kisaawe e Namboole.
Gibadde mikolo gya gy’okkukuza olunaku lw’okwefumiitiriza ku kirwadde ky’omusujja gw’ensiri.
Obubaka bwa Ssaabaminister bumusomeddwa, minister w’eby’obulamu, Dr. Jane Ruth Acenge Ocero.
Agambye nti Uganda esaasanya obuwumbi obusoba mu 444 buli mwaka okujjanjaba malaria, nga n’olwekyo essira lirina kussibwa kukugema.
Abantu abasoba mu mitwalo esatu mu Uganda bebafa buli mwaka olw’omusujja gw’ensiri.
So nga Uganda ekwata kyakusatu mu mawanga agasingamu abantu okufa omusujja, ng’obulwadde buno busaasanira ku bitundu 9.2%.
Ku mikolo gino Ssaabaminister Nabbanja kwasbulidde obugaali obw’okwetoloola ebyalo,okumanyisa abantu ku ngeri y’okwewalamu Malaria.
Mulimu okukubiriza abantu okusula mu butimba bw’ensiri,okufuuyira ensiri,okwegemesa,okusaawa omuddo okwetoloola awaka n’ebirala.
Akulira emirimu gy’ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu ki World Health organization mu Uganda Dr Yonus Tegegn Woldermariam, akikkaatirizza nti okugema endwadde kati kwekulina okussibwako essira,okusinga okulinda okujanjaba.
Dr Jane Ruth Aceng Ocero, agambye nti government eyongedde ensimbi mu kawefube w’okulwanyisa endwadde ezisiigibwa, kyokka naasaba banna Uganda okufaayo n’okwegemesa ekirwadde kya Covid 19, nabuli mu muntu okukola kyasanidde okukola okulwanyisa endwadde.
Omubaka wa America mu Uganda Natalie Brown, naye asuubizza nti America yakwongera obuvujjirizi mu kulwanyisa omusujja gw’ensiri, era nga babadde bakasaamu obukadde bwa doola 480 nga zabujanjabi, kati bakwongera obutimba bwensiri n’eddagala erifuuyira.
Dr Jimmy Opigo, akulira ekitongole ekirwanyisa omusujja gwensiri mu ministry y’eby’obulamu ekya Malaria Control Program, agamba nti mu kawefube w’okulwanyisa n’okumalawo omusujja gw’ensiri mu Uganda bagala omwaka 2030 nga tegunayita, gubeere nga gufuuse lufumo.