Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo n’okubala abantu mu ggwanga ki Uganda Bureau of Statistics-UBOS, kirangiridde nti kimalirizza okutalaaga eggwanga lyonna okuteekateeka abakulembeze b’ebitundu ku ntegeka y’okubala abantu, etandika nga 9 okutuuka nga 19 May,2024.
Ssenkulu wa UBOS Dr. Chris Mukiza mu nsisinkano n’abakulembeze ba district ye Wakiso okuli Ssentebe, CAO akulira abakozi.m RDC nabalala, agambye Wakiso ye district egenda okusinga okuwebwa enkizo mu ntegeka eno, nti kubanga yesingamu abantu abasulamu wabula nga bakolera mu bitundu birala ate nga bakola mmere ya leero, gattako okuba ng’erina obubuga bungi.
Akulira abakozi mu district ng’akiikiriddwa omumyukawe Betty Nankiindu, awamu ne Ssentebe wa district Matia Lwanga Bwanika, bategezezza nti bagala government emanye nti district eno erina kinene kyegasa eggwanga bakomye okujiwa obusennte obutono obw’okukola emirimu.
Okubala abantu 2024 kusuubirwa okuwemmenta obuwumbi bwa shs 399, ng’okwasembayo mu 2014 kwawementa obuwumbi bwa shillings obusoba mu 75 n’abakozi abaali mu mitwalo 15.
Aba UBOS bategezezza nga ku luno bebagenda kukozesa nnyo empeereza ya Technology, era nga bu computer bwomungalo obwa Tablets obuunukkiriza mu mitwalo 110,000 bwebugenda okugulibwa ku mulimu guno.
Mu kiseera kino bakagulako tablets emitwalo 36,000. kakaaga zatuusedda.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo ne Kawuma Masembe