Government etaddewo olwa nga 10 May,2024 okuddamu okubala abantu bonna abali mu ggwanga.
Abantu bonna abanaaba basuze mu Uganda ku lunaku olwo bebagenda okubalibwa, era olunaku olwo luliba lwakuwummula mu ggwanga lyonna.
Kino kye kimu ku biteeso ebyayisiddwa olukiiko lwaba minister, byanjuddwa minister w’ebyamawulire Chris Baryomunsi ku Uganda Media centre mu Kampala.
Agambye nti enteekateeka eno ey’okubala abantu yakukolebwa nga bannauganda bakozesa enkola ey’okuyita ku mutimbagano (digital).
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga kyali kyategeka okubala abantu mu August 2023 nekitasoboka olw’ebbula ly’ensimbi.
Okubala okwasembayo kwaliwo mu August wa 2014, era bannauganda abaabalibwa kwolwo baali 34,634,650.
Minister Chris Baryomunsi era ategezezza nti ba minister baayisizza ekiteeso, nti amasomero gonna mu ggwanga buli ssomero lirina okubeera n’ekisaawe okusobozesa abaana okuzannya, okukula obulungi, n’okukuuma emibiri gyabwe nga miramu bulungi n’ebirala.
Ba minister era bayisizza ekiteeso nti abakungu n’abakozi ba government abagenda ku ngendo entongole ebweru w’eggwanga basaabalirenga mu nnyonyi y’eggwanga eya Uganda Airlines nga bagenda ku ngendo gyekkirizibwa okugwa.#