Kkooti etaputa semateeka erangiridde olwa Thursday nga 28th September,2023 lwegenda okuwa ensala yaayo mu musango ogwaloopwa omubaka wa Mityana municipality Francis Zaake mwawakanyiza eky’okugobwa ku kifo kya commissioner wa parliament.
Mu June 2023 abalamuzi ba kkooti eno 5 okuli; Irene Mulyagonja, Catherine Bamugemereire, Christopher Izama Madrama, Stephen Musota ne Muzamiru Kibedi baafundikira okuwulira omusango guno, era nebategeeza nti ensala yaabwe yali yakuweebwa mu kiseera ekitali kigere.
Kyokka oluvannyuma lwokulinda ensala eno nga teweebwa, Bannamateeka ba Zaake abakulemberwamu Erias Lukwago baddayo okwekubira enduulu ew’amyuka Ssabalamuzi Richard Buteera, nga bagamba tebalaba nsonga ereetera kkooti okulwawo okuwa ensala mu musango guno ogwawulirwa edda.
Wabula kyazuulibwa nti abalamuzi 2 ku baawulira omusango guno okuli; Stephen Musota ne Christopher Madrama baali basuumusibwa okufuuka abalamuzi ba kkooti ensukulumu nga ensala tennaweebwa, bwekityo nekireetawo omukoosi, era omusango guno gwaddamu neguwulirwa buto nga Kati kitegerekese ensala yakuweebwa wiiki ejja.
Zaake yagobwa kubwa kamisona bwa parliament nga 10th March 2022 ng’ Ababaka baamulanga okusiwuuka empisa nalengezza sipiika wa parliament Anita Among ng’ayita ku mutimbagano.
Zaake ayagala kkooti esazeemu ebyokumugoba nti kubanga tebyagoberera semateeka, ate era nti kkooti etunule nemubuyinza bwa sipiika bwagamba nti busukiridde ekiteetagisa ekikolwa ekikontana ne ssemateeka.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam