Ababaka abatuula ku kakiiko ka parliament akakola ku nsonga z’amateeka kakunyizza kaliisoliiso wa government Betty Namisango Kamya kunteekateeka empya ey’okulwanyisa enguzi n’obulyake.
Enteekateeka eno emanyiddwa nga ”life style audit”, erondoola eby’obugagga by’omuntu byalina okuzuula oba nga bija mu musaala gw’afuna n’enyingiza endala z’alina mu mateeka.
Betty kamya ababaka okutuuka okumukunya abadde agenze mu kakiiko ako okukanjulira embalirira ye kitongole kye, ey’omwaka gw’eby’ensimbi ogujja ogwa 2022-2023 eyo buwumbi 67.7.
Ababaka bamutadde ku nninga annyonyole engeri ekitongole kye gyekyetegeseemu okukozesa enkola eno, nti kuba abakozi ba government bangi ebyobugagga byabwe babikweka mu bantu balala.
Betty Kamya ategeezezza ababaka nti mu nkola eno, bagenda kweyambisa nnyo bana Uganda abajja okubawa nga amawulire agakwata ku by’obugagga bya bakozi ba government.
Agambye nti kino kyakubayambako nabo okutandiko okubanoonyerezaako, okuzuulira ddala nti omusala gwebaba bafuna oba guba gubasobozesa okuba neby’obugagga ebyo.
Stephen Baka omubaka wa Bukhooli North ne Joanne Okia omubaka omukyala owa district ye Madi-Okollo, era atadde ku nninga kaliisoliiso wa government anyonyole ekibalemesa okukwata abakozi ba government, abamanyiddwa obulungi nti banyaga ensimbi za government nebazigulamu ettaka .
Anne Twinomugisha Muhairwe, omumyuka wa kaliosoliiso wa government ategeezezza, nti enkola ezibaddewo emabega zibadde ziwa ekyanya abakozi ba government okunyaga ensimbi za government wabula nebatazuulwa.
Agambye nti abakozi abamu abanyaga ensimbi za government basigala nga beyisa nga abatalina kantu konna,era nga nabasinga batambulira ku bodaboda ne taxi.
Agambye nti bino byonna enkola ya life stylea audit yakubayamba okubagwa mu buufu bannyonyole.