Obwakabaka bwa Buganda okuyita mu ministry ya Bulungibwansi ng’ekolagana ne government ya wakati okuyita mu ministry y’amasannyalaze n’obugagga obw’ensibo, batongozza kaweefube w’okutaasa obutonde bw’ensi nga bayita mu kusomesa abantu okufumbisa amasannyalaze ga UMEME n’amasannyalaze g’amaanyi g’enjuba.
Enteekateeka egenderera okukendeeza ku kufumbisa enku n’amanda, ng’egmu ku mirimu egiviiriddeko okusanyaawo ebibira.
Enteekateeka etuumiddwa “Kyusa enfumbayo” etongolezeddwa ku mbuga enkulu mu Bulange e Mmengo.
Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Prof Twaha Kaawaase Kigongo bw’abadde agitongoza agambye nti Buganda yaakuyamba nnyo mu nsonga eno ng’eyita mu bukulembeze bwayo okuviira ddala ku batongole okutuuka ku Katikkiro n’abakulu b’ebika.
Owek. Kaawaase yeebazizza nnyo government eyaawakati olw’okuggya omusolo ku bikozesebwa mu kufumba ku masannyalaze ne gas kyagambye nti kigenda kukendeeza ku bbeeyi yaabyo, olwo kyanguyize abantu ba Kabaka okubyetuusaako.
Minister w’amasannyalaze n’obugagga obw’ensibo Dr. Canon Ruth Nankabirwa agambye nti ssinga banna Uganda bettanira enfumba eno (Clean Cooking) kijja kubayamba okwetangira endwadde eziva mu mukka ate n’okukendeeza ku budde bwebamala nga bafumba ku nku oba Amanda.
Agambye nti nga government balina essuubi ddene mu Bwakabaka bwa Buganda kubanga banna Uganda bawulira nnyo eddoboozi eriva embuga.
Ku lw’ekitebe kya Bungereza mu Uganda akiikiridde omubaka wa Bungereza Benjamin Zeifyin agambye nti baasalawo okussa amaanyi mu kukuuma obutonde bw’ensi, kubanga bubadde busaanyeewo ekireese n’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde okwetooloola ensi yonna.
Abakulu baasoose kulambula omwoleso gw’ebikozesebwa mu kufumba okuli Esseffuliya ezimanyiddwa nga Pressure cookers ezikozesa amasannyalaze amatono ddala n’amaanyi g’enjuba.
Balambudde ebyoto ebikozesa amafuta agakamulwa mu kasooli (Ethanol) n’essigiri ezikkekkereza Amanda.
Wabaddewo n’okugezesa ebyuma bino, Owek. Kaawaase, minister Nnankabirwa n’akiikiridde omubaka wa Bungereza Benjamin Zeifyin mwebafumbidde emmere okuli amatooke, okugoya akalo, n’enva okuli ennyama n’ekirenge ky’ente, nga bino byonna bijjiiridde mu budde obutasussizza ssaawa emu.
Minister Nankabirwa ku lwa ministry atonedde Katikkiro, abamyuka ba Katikkiro, ba minister, n’abamu ku baami b’amasaza n’abakungu ab’enjawulo esseffuliya ezikekkereza amasanyalaze.
Omwoleso guno gwetabyeko n’abayizi okuva ku Lubiri High School ne Jonies Vocational Institute abayimbye n’okutontoma ku mulamwa gw’okukuuma obutonde bw’ensi.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.