
Obuwumbi bwa shilling 421 bwebwakasasulwa abakozi,abaasaba okuwebwa ku nsimbi zabwe ebitundu 20% zebabadde batereka n’ekitongole kya NSSF.
Enteekateeka eno yatandika nga 7 march 2022, nga bagoberera enkola empya ey’etteeka erirungamya emirimu gy’ekittavvu kino erya National Social security Fund (Amendment Act) 2022.
Abantu abafuna ensimbi zino beebo abawezezza emyaka 45 egy’obukulu, nga baterese okumala emyaka 10, nebawebwa ku sente zabwe ebitundu 20% oba ebitundu 50% eri abaliko obulemu.
Alipoota y’ekitongole ky’ekittavvu kino eraga nti abantu 21,603 bebakawebwa ku nsimbi zino mu bbanga ery’emyezi 3, okuva nga 7 March,2022 okutuusa nga 31 May, 2022.
Richard Byarugaba, ssenkulu w’ekittavvu kya NSSF, agamba nti ba memba 8,110 bebasabye ssente nga bayita ku mitimbagano, ssonga abantu 13,493 bebaatuuse obutereevu ku bitebe bya NSSF.
Ekitongole ky’ekittavvu kino, kyasalawo okugabira abantu waakiri obuwumbi 50 buli wiiki.
Ku ba memba 41,174 abatuukirizza obukwakkulizo, wasigaddeyo ba memba 19,571 bokka abatanaba kusasulwa.
Byarugaba agamba nti bataddewo ne nnamba za ssimu okuli eya 0800-286-773, eyobwerere abantu gyebalina okukubako singa babeera balina okwemulugunya kwonna ku nsimbi zabwe zino.
Bisakiddwa : Ddungu Davis