Obutimba bw’ensiri obukadde 28 bwebugenda okugabibwa mu district 12 n’ebibuga 2, mu kawefube w’okutangira omusujja oguleetebwa ensiri.
District ye Mbale, Kaliro, Sironko, Rakai, Bugweri, Masaka City, Dokolo, Kyotera, Mbale city, Kalungu, Bududa, Lwengo, Nakaseke zezisoose okufuna obutimba mu mutendera guno ogwokubiri ogutandise nga 01 August 2023.
Rukia Nakamatte ow’ebyempuliziganya mu nteekateeka eno ey’okugaba obutimba bw’ensiri ategezezza nti obukadde 4 bwebusuubirwa okugabibwa mu district ezo mu nnaku zino 4.
Omutendera ogusooka gwaliwo mu May 2023 mu district 34 ezisinga okubaamu omusujja gw’ensiri naddala ez’e Busoga n’obukiika kkono bw’eggwanga.
Okusinziira ku Minister w’eby’obulamu, Dr. Jane Ruth Achieng, omugema omusujja gw’ensiri mu baana abatanaweza myaka 5 kusuubirwa okutandika omwaka ogujja 2024.#