Abakulembeze n’Abalunzi mu district ye Lyantonde, beraliikirivu olw’ekirwadde kya Kalusu ekibaluseewo mu magombolola agawerako, era n’obutale bw’ebisolo bugaddwawo.
Dr. Ronald Bameka akulira ekitongole ky’obulunzi mu district ye Lyantonde, agambye nti obulwadde buzuuliddwa mu gombolola ye Kasagama, Kaliiro, Kinuuka ne Lwakajula.
Dr. Ronald Bameka, agambye nti teri kisolo kyonna kikkirizibwa okutambuzibwa omuli Ente, Embuzi, Endiga n’embizzi.
Amata n’omuzigo nabyo biwereddwa.
Emyaka 2 egiyise e gombolola ye Kaliiro yeyokka eyakosebwa obulwadde, era kati buzeemu ne mu gombolola endala, ziggaddwa tewali akkirizibwa kutambuza nsolo ng’azifulumya oba ng’aziyingizaayo.
Embeera eno yeraliikirizza abalunzi ababadde basuubira okutunda ebisolo byabwe mu nnaku enkulu.#